OKUNYUMYA akaboozi, kitundu ku bulamu bw’abaagalana era kazimba enkolagana
ey’omuggundu. Okuva edda n’edda, kano kaanyumizibwanga naye kati ebikyuse bingi. Nazzikuno, ng’ensonga z’okwegatta zifugibwa mpisa, obuwangwa n’ebintu ebyali bitoogerwa mu lwatu. Ku mulembe guno, tekinologiya, embeera y’obulamu ekyuse n’endowooza empya ku mukwano byongedde okukyusa engeri abantu gye batunuuliramu ensonga z’okwegatta.
Kati abantu boogera ku nsonga z’okwegatta mu lwatu okusinga bwe kyali edda nti zaalinga za mu nkukutu. Leero, okufuna amawulire agakwata ku nsonga zino kyangu okusinga bwe kyali edda. Naye eddembe ly’okwetaaya mu by’okunyumya akaboozi litegeeza nti abantu baafunye essanyu n’okumatizibwa okusingawo?
Ssenga Irene Namuddu okuva e Bulenga agamba nti akaboozi ku mulembe ogw’edda kaanyumanga kubanga baafubanga kuwasa abantu abo bennyini be beetaaga era oluusi omuwala bwe baamufuniranga omuntu wagala, naye yatuukanga mu bufumbo, n’amwagalirayo. Mu maka, omwami yalina okuba ng’ayagala nnyo mukyala we
ng’era akola byonna ebimusanyusa, ekigenze kikendeera. Ekitanda ky’abaagalana mu mirembe egy’edda, kyabanga ffuuti 2 ku 3 okwawukanako ne leero, abafumbo bwe basula ku ‘mazongoto’. Eky’edda olw’okuba kyabanga kitono, nga kyangu okukuuma
omukwano olw’ensonga nti buli lwe weekyusanga nga munno omuwulira mu buliri nti
mw’ali nga ne bwe muba muyombye, kyangu okuzza omukwano ne mwogera. Kyokka ku bitanda bya mazongoto ebiriwo kati, tosobola kukoona ku munno ate bwe muba mwafunyeemu obutakkaanya, gujabagira anti munno akusula wala ddala n’atakuganya wadde okumukoonako.
Ebirala ebikyuse Ssenga Namuddu abirambuludde; 1. Ssenga Namuddu agamba nti
leero buli omu anoonya ssente mu maka, era abakazi abamu, obwagazi abufuna alabye ku ssente. Kyokka edda, ekitanda ye yabanga ttivvi y’abafumbo nga buli omu yeesunga munne. Situleesi z’ennaku zino zitwala bakyala n’abaami era olw’okuba abakyala oluusi
baakunoonya, obwagazi buva wala, era agenda okulowooza akaboozi ng’alina kye yeetaaga ku bba so si mukwano.
2. Obugoye bw’omu kisenge obuyitibwa ‘lingerie’ leero be baanabaliwo era omuwala omuto atabulina aba tamanyi mulembe uliko kuba abeera alina okusabbalaza munne. Edda, akaboozi kaanyumizibwanga mu nzikiza era nga kataba mu kiro. Wabula ennaku zino, abamu baagala kukanyumya ng’amasannyalaze gaaka. Bano beekwasa nti, baagala
balye emmere gye balaba obulungi si kulwa nga...
3. Ennaku zino, abaagalana bavumbula buli kafo ke basobola okunyumizaamu akaboozi n banyumirwa nga mu mmotoka, mu kinaabiro n’awalala wabula edda akaboozi kaanyumizibwanga mu kisenge ky’abaagalana ra ng’ekisenge bakiwa nnyo
ekitiibwa.
4. Enkozesa y’enkumbi egenda ekyuka. Edda, lyali tteeka omukyala okulongoosa bba nga bavudde mu kazannyo. Aba luno, abamu enkumbi tebazimanyi, baddukirawo mu kinaabiro kunaaba nga tebazikozesezza. Abamu ku bazikozesa, obulomnolombo bwazo, tebabumanyi.
5. Akaboozi k’ennaku zino, tekaliiko budde! Abaana ba luno banyumya akaboozi essaawa yonna. Oli asobola n’okwewungulamu mu malya g’ekyemisana nga bali ku mirimu, n’agenda atereeza munne. 6. Ebibassa mu mmuudu nabyo bikyuse kuba edda obwagazi bwavanga mu butonde, endya ennungi n’oky’abaagalana okubeera nga beesemberedde naddala nga bwe baasulanga ku kitanda ekitono, omukyala n’akoona ku
bba ekyensuti n’amucankalanya gye biggweera ng’amumezze. Ebya leero byakyuka anti abamu okufuna mmuudu y’okwegatta, basooka kulaba butambi, ffirimu n’ebiringa ebyo.
7. Edda, kyakwasanga omukyala ensonyi okusaba bba akazannyo nga waakiri ayita mu bikolwa. Ennaku zino, abawala tebatya kukyatula.