MULENZI ggwe, ozadde abaana abangi naye ogaanye okubalabirira. Obasuulira bazadde bo ng’okimanyi nti tebalina busobozi kubalabirira. Emmere gye babaliisa weerii naye ate okusoma, okulwala n’okusula ng’abaana bwe bateekeddwa okubeera, bazadde bo tebasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo.
Bw’oba tosobola kubeera nabo olw’emirimu gy’okola, eby’okuzaala biveeko kuba kati olina abaana 5 ku myaka 25 gy’olina. Buli mukyala akuzaalira, omwana omumuggyako
n’omutwalira abazadde era waliwo n’omwaka ogumu, mwe wazaalira abaana 3. Okimanyi nti singa basigala ne bannyaabwe abakyala abo abataano balina okukusaba obuyambi.
Obasuulira bazadde bo babafeeko mu buli kimu ng’olowooza balina obusobozi ate nga ne banno, balina abazzukkulu be baaweerezaayo wadde nga bo basindika obuyambi ate b’oyagala baggyeeyo abaana baabwe ng’okimanyidde ddala nti obuyambi bwe baweereza, bujja kukendeera.
Abaana bo bagenda kuleetera maama wo obuzibu era kitaawo yagala obaggyeewo.
Bavubuka temwonoona bufumbo bwa bakadde bammwe nga bakuze. Bandibadde
beeyagalira mu bufumbo nga bakulanye naye ate mubawa obuvunaanyizibwa bwe batasobola.
Omuzadde yeesunga ekiseera ng’abaana bakuze nga bali bulungi kuba bamanyi
nti obuvunaanyizibwa bugenda kukendeera. Naye mmwe temubasaasira. Mukola ensobi
mu bulamu bwammwe ne mulowooza nti tulina okubayamba mu nsobi zammwe.
Abazadde baagala okubayamba era omutima ogw’ekizadde tegubula naye ate oluusi kisukka kuba obuvunaanyizibwa bwe mubateekako buba bunene ate nga tebalina busobozi. Noolwekyo, temumala gazaala ate n’ekirala, kola ky’olina okukola ng’omuzadde olabirire abaana bo. Baakulabirira kati lwaki tolabirira babo?
Osobola okukola ensobi esooka n’eyookubiri, olina okuyiga obutaddamu kukola nsobi eyo.
Bazadde bo be batawaanyizibwa mu nsobi z’okola. Kati obufumbo bwa kitaawo ne nnyoko butabuse lwa baana bo.
Olina okwetikka omugugu gwo kuba maama wo tajja kuva mu maka lwa baana bo. Osobola okufuna omukozi abeere nabo oba omukyala gw’owasa abalabirira oba okubassa mu kisulo. Beera n’obuvunaanyizibwa ku zzadde lyo.