Ndi mukyala mufumbo era mbumazeemu emyaka 5. Sifuna bwagazi bwa kwegatta era biba bya kulwana n’omwami wange ate ng’omusajja mmwagala. Ng’enze mu basawo bangi naddala ab’ekinnansi naye tewali njawulo.
Naye nga ndi wa myaka 12, kojja yankwata era oluusi ndowooza nti oba alina kye yankola. Ssenga nkole ntya? Mwana wange olabye. Abaana abawala abamu bwe bayita mu mbeera ey’okubakaka omukwano oba okubakwata, nga gwe bwe wali nga bakosebwa ku bwongo era ne bakyawa okwegatta. Era mu mateeka, okukaka omwana atanneetuuka omukwano musango. Ate era musango okukaka omukyala omukwano.
Kati abakyala n’abawala bangi bwe bafuna obuzibu buno basirika kuba kya buswavu ate
oluusi n’okutya omuntu oyo akikoze nti asobola okubayisa obubi. Kati mu mbeera eyo okusirika kuleeta ebizibu. Omukyala oba omuwala afunye obuzibu buno alina okulaba omuntu amubudaabuda. Ku poliisi waliyo abakyala abasobola okukuyamba oba ne bakusindika, mu kifo w’osobola okufuna obuyambi.
Bw’oba tewafuna buyambi buno ng’ekizibu kino okifunye era osobola okufuna obuyambi kati. Obuzibu buno buleetera omukyala okutya okwegatta anti nga obwongo bujjukira ekyaliwo. Kati wagenda mu bufumbo naye g’ensonga eno ekuyisa bubi mu bwongo. Obwagazi bufa mu bakyala oba abawala abafuna obuzibu buno.
Abasawo ab’ekinnansi embeera eno tebagisobola. Olina okulaba omuntu asobola
okukubudaabuda owone bulungi mu bwongo. Kojja ekikolwa kye yakukola kikosa abakyala era n’abawala bangi. N’abakyala abangi tebafuna bwagazi ate bafumbo naddala nga tebalina mukwano eri abaami baabwe. Oluusi waliwo ebintu ebibeera mu maka ne bigaana omukyala okufuna obwagazi. Ekitundu ekisinga obukulu mu kwegatta, buba bwongo. Obwongo bwe bubeera mu mbeera ennungi, ofuna obwagazi