ABALI mu mukwano abamu, balowooza ku kaboozi ak’ekikulu, ng’ekikolwa kyokka ekiyinza okubawa essanyu.
Naye singa wabaawo embeera etebasobozesa kunyumya kaboozi, olwo amaka temuubeeremu ssanyu?

Mu budde bwammwe obw’eddembe, musobola okuzannya matatu, ne kisitula obusimu bw’omukwano n’okunyweza okwagala kwammwe. Kojja Ssemanda agamba nti nga muzannya matatu, munno musoomooze nti buli kagoba ’omuwangula ng’aggyamu akagoye kamu ku kamu okutuusa bwe zimuggwa ku mubiri olwo ne muteesa ekiddako.
l Omuwala, omwami wo muyimbiremu obuyimba era omubiibizeemu naddala ng’onyoola ekiwato. Olw’okuba oba weesaze obugoye obusikiriza, omwami ne bw’akusiibula okuva awaka, yonna gy’aba agenze akuba obufaananyi nga bw’abwoza era abeera ayagala addemu okukulabako ng’omusanyusa mu ngeri yeemu. Namuddu agamba nti, okunyoola ekiwato mu ngeri enyuma oba oyogedde byonna omwami by’ayagala okuwulira naye nga toyatudde, ago ge maanyi gaakyo. l Ate ggwe omusajja,n mukyala wo muweekeko oba omulereko nga bbebi kuba abakyala baagala
okubayisa nga ba bbebi. Osobola n’okumuliisaako.
l Omukyala munyonyoogere mu matu, ku maviivi n’obugere era wano osobola okukozesa omukisa ogwo n’oyonka ku kagere k’omukyala. Ne bwe mutanyumya
kaboozi, omukyala aba asobola okumalamu akagoba mu ngeri ey’olusaago.
l Waliwo n’ebintu ebissa mu mmuudu, abakyala bye balina okukolera abaami baabwe nga okubakulisaayo. Abaami abamu balowooza nti be bokka abalina okwambula abakyala naye n’abasajja banyumirwa nnyo nga bakyala baabwe babambudde. Omwami
mukuliseeyo era omutikkule by’aba asitudde oluvannyuma omwambule. Omukyala kkakkana ku maviivi osumulule omusipi gwa balo, omusibe ttawulo mugende mu kinaabiro.
l Okunaabako mwembi kikulu. Bwe muba mulina ekinaabiro kye musobola okutuulamu ebiyitibwa bath-tub mu lungereza, omukyala ssaayo amazzi ag’ekisuususu mutuulemu mwembi. N’abatalina kinaabiro kya mulembe bwe kityo musobola okukola ebinyuma
mu ngeri yammwe. Ne bw’oba tonaabye na mwami, muteereyo mazzi era omulindeko ng’anaaba.
Bino birabika nga eby’edda naye binyumisa omukwano.
l Okukola awamu emirimu. Kino kizza buggya omukwano ate kireeta essanyu mu maka. Era kijjukiza abasajja, okuyambako omukyala. Kisobola obutaba kya buli lunaku era osaanye okikole lw’osobodde.
OKUWABULA Kojja Brian Ssemanda awabula nti wadde emizannyo ginyumisan omukwano, naye oluusi gisobola okufuuka akabasa singa tegizannyibwa na bwegendereza. Erab awabula abafumbo obutafuula luzannyiikirizo kamanyiiro eri abaagalwa baabwe wabula okunyweza omukwano gwabwe