Ssenga

Tukuleetedde ebinyumisa omukwano nga temuzannye kazannyo

ABALI mu mukwano abamu, balowooza ku kaboozi ak’ekikulu, ng’ekikolwa kyokka ekiyinza okubawa essanyu.

Abaagalana nga bazannya obuzannyo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABALI mu mukwano abamu, balowooza ku kaboozi ak’ekikulu, ng’ekikolwa kyokka ekiyinza okubawa essanyu.
Naye singa wabaawo embeera etebasobozesa kunyumya kaboozi, olwo amaka  temuubeeremu ssanyu?

Waliwo ebintu ebirala by’osobola okukola okukuuma ebbugumu n’essanyu mu laavu. Ebintu bino biyinza okulabika ng’ebya bulijjo, ebirala ne birabika ng’eby’ekiralu, naye bizimba okwesigang’ana,  okwagalana, okufaayo n’okunywezam nkolagana wakati w’abaagalana.
Kojja Bryan Ssemanda, omukugu mu byomukwano agamba nti, abaagalana batwala  kaboozi  ng’akabonero akasinga obukulu  akalaga nti abantu bali mu mukwano.  Agamba, kino kituufu naye yanokoddeyo n’ebirala ebizimba  enkolagana ey’amaanyi. Okugeza; abaagalana mu biseera byammwe eby’eddembe, musobola okuzannyamu
emizannyo egy’omu buto ng’ogwa ‘jangu onkwekule’. Bino binyumisa omukwano kuba si buli ssaawa nti eba yaakukakasa munno nga bw’omanyi okwesa empiki. Kojja Ssemanda akoonye ne ku bintu
ebirala ebisanyusa, abaagalana bye basobola okukola ne bikuuma  ebbugumu mu laavu;
l Mu kisenge ky’abaagalana, musobola okuzannyirayo emizannyo nga ludo, omukwano ne gunywera n’okubanyumira nga muvudde ku kukola ebintu ebibafuula siriyaasi
 ennyo.


l Osobola okubeera ng’otya okugamba munno nti oyagala mugezeeko ku sitayiro
endala. Kyokka kyanguwa nnyo singa okiyisa mu kazannyo. Era  abaagalana, musobola okugula eby’okuzannyisa by’omu kisenge  bibasalirewo kye mulina okukola.  Olwo munno n’omugamba  by’oyagala akukolere singa omuwangula akazannyo ako naye g’omuyise wala era n’atanyiiga kuba akazannyo mubeera mukabaddemu mwembi.
l Mwenyumize ku mboozi ezinyuma. Waakiri munno munyumize nga kkapa bwe yatta ente, emboozi eve awo akubuuze ebibuuzo nga bwe museka, ogwo gwe mukwano n’okuwulira awaka nga wanyuma.Ssenga Irene Namuddu, ow’e Bulenga akubye abawala akaama, okwambala obugoye bwa bakomando.
Nti buno bw’obusuulamu, obeera nga omuserikale alina ’empingu z’ekisenge era munno
omukolako effujjo erinyuma.
Agamba nti, eriyo obugoye bussonsomola era abakyala abafumbo, teri kibambaza ngoye nnene ate nga mpanvu ng’omwami waali. Suulamu obugoye obwo,  obiguliremu omwami ku bbina asabbalale.
Obugoye buno busitula omutima era omwami ne bw’aba atudde n’akutunulako, mutabani we tasobola kutereera.
l Agattako nti, ng’abakyala bwe banyumirwa masaagi, abasajja bamunyumirwa n’okusingawo era omukyala bw’ofuna obudde, omusajja wo mukole ku masaagi, anyumirwe. Abasajja balina obwagazi mu nkoona n’amabeere ng’omukyala bw’aba  amanyi bw’asobola okukikola, omwami wo asobola okumalamu akagoba ng’amukutte bulungi mu bifo ebyoEkisenge ky’abaagalana tekirina kubulamu matatu.

Mu budde  bwammwe obw’eddembe, musobola okuzannya matatu, ne kisitula obusimu bw’omukwano n’okunyweza okwagala kwammwe. Kojja Ssemanda agamba nti nga muzannya matatu, munno musoomooze nti buli kagoba ’omuwangula ng’aggyamu akagoye kamu ku kamu okutuusa bwe zimuggwa ku mubiri olwo ne muteesa ekiddako.
l Omuwala, omwami wo muyimbiremu obuyimba era omubiibizeemu naddala ng’onyoola ekiwato. Olw’okuba oba weesaze obugoye obusikiriza, omwami ne bw’akusiibula okuva awaka, yonna gy’aba agenze akuba obufaananyi nga bw’abwoza era abeera ayagala addemu okukulabako ng’omusanyusa mu ngeri yeemu. Namuddu agamba nti, okunyoola ekiwato mu ngeri enyuma oba oyogedde byonna omwami by’ayagala okuwulira naye nga toyatudde, ago ge maanyi gaakyo. l Ate ggwe omusajja,n  mukyala wo muweekeko oba omulereko nga bbebi kuba abakyala baagala
okubayisa nga ba bbebi. Osobola n’okumuliisaako.

l Omukyala munyonyoogere mu matu, ku maviivi n’obugere era wano osobola okukozesa omukisa ogwo n’oyonka ku kagere k’omukyala. Ne bwe mutanyumya
kaboozi, omukyala aba asobola okumalamu akagoba mu ngeri ey’olusaago.
l Waliwo n’ebintu ebissa mu mmuudu, abakyala bye balina okukolera abaami baabwe nga okubakulisaayo. Abaami abamu balowooza nti be bokka abalina okwambula abakyala naye n’abasajja banyumirwa nnyo nga bakyala baabwe babambudde. Omwami
mukuliseeyo era omutikkule by’aba asitudde oluvannyuma omwambule. Omukyala kkakkana ku maviivi osumulule omusipi gwa balo, omusibe ttawulo mugende mu kinaabiro.
l Okunaabako mwembi kikulu. Bwe muba mulina ekinaabiro kye musobola okutuulamu ebiyitibwa bath-tub mu lungereza, omukyala ssaayo amazzi ag’ekisuususu mutuulemu mwembi. N’abatalina kinaabiro kya mulembe bwe kityo musobola okukola ebinyuma
mu ngeri yammwe. Ne bw’oba tonaabye na mwami, muteereyo mazzi era omulindeko ng’anaaba.
Bino birabika nga eby’edda naye binyumisa omukwano.

l Okukola awamu emirimu. Kino kizza buggya omukwano ate kireeta essanyu mu maka. Era kijjukiza abasajja, okuyambako omukyala. Kisobola obutaba kya buli lunaku era osaanye okikole lw’osobodde.
OKUWABULA Kojja Brian Ssemanda awabula nti wadde emizannyo ginyumisan omukwano, naye oluusi gisobola okufuuka akabasa singa tegizannyibwa na bwegendereza. Erab awabula abafumbo obutafuula luzannyiikirizo kamanyiiro eri abaagalwa baabwe wabula okunyweza omukwano gwabwe

Tags: