Waliwo kati ekirowoozebwa nti bamaama bakoze kinene okujungulula amaanyi ga kojja eri abaana baabwe abalenzi, Ssaalongo Tamale ky’atawakanya naye agamba nti mu butonde, ekitonde ekisajja kyagala nnyo ekitonde ekikazi ate ekitonde ekikazi ky’agala
nnyo ekitonde ekisajja.
N’omwana omulenzi bwatyobw’ayagala ennyo maama we era ne maama ayagala nnyo omwana omulenzi, lwakubaoluusi omukwano gusukka egulina okukoma ate ne
gwonoona.
Mu nnono, omulenzi bwe yatuukanga okuwasa, yatwaliranga maama omukyala era maama bwe yakusiimanga ng’olwo ojja kufumba.
Emikolo bwe gyaggwanga, maama yafumbanga ekijjulo ekisooka, era maama, jjajja omukyala n’abantu abalala abatono nga ba munda nga batuula mu kisenge ne babubuulira omuwala ebigambo ebikusike nti ekimuleese kufumba.
Olw’okuba bikusike baatebeerezebwanga okugamba nti “...mwana wange ow’obuwala ozze okukolera omusajja oyo bye sisobola kumukolera kuba nze mmuzaala, weebale kujja kufumbirwa mutabani wange naye ozze okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe sisobola kutuukiriza noolwekyo okolanga bw’oti ne bw’oti... ” ne jjajja naye n’ayongerezaako, ne mulamu naye bw’atyo ng’awerekereza bigambo abakulu bye baba baasoose
okwogera.
Oluvannyuma lw’ekyo, omuwala bwe yafulumanga ekisenge ng’amanyi eky’okukola naye kati tekikyaliwo.
Omuwala olwavangamu kisenge, yabeeranga akitegedde nti kati amaka gage kuba alina eky’enjawulo ekireetedde bba okumuwasa, aba famire ye kye batasobola kumuwa era kyamuwanga maanyi okweyagalira mu maka so si kukajjala. Omwana omuwala yafuukanga wa ddembe okubaako by’agamba nazaalawe nga tamutya olw’ebigambo bye yamugambanga nga mugole.
Era omulenzi, omuwala yamuloopanga ewa nnyina bwe yabanga omubuulirire nga tanyiiga kubanga kojja we aba yamukuutira okufuba okulaba nga taloopebwa ku buko