Ssenga

Munywanyi talina w’avuganyiza na Stock empya!

MU bulamu tulina bye tukola mu ngeri ey’ekyejo kyokka ate ebivaamu nebitukosa ne tudda mu kwekubagiza n’okunenya abalala.

Sandra MUNNAKIBUGA
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MU bulamu tulina bye tukola mu ngeri ey’ekyejo kyokka ate ebivaamu ne
bitukosa ne tudda mu kwekubagiza n’okunenya abalala.

Munywanyi wange oli eyagalabanja omusajja ne bamumutwalako bino bye ndeese leero yabinnyumirizza mu kusoberwa.
Ku Lwokubiri oluwedde twakulaze bwe yawagaanyizza n’addayo ewa bba afune omwagaanya amwegayirire amuddiremu. Jjukira bba yayingizaawo dda ‘Stock Empya’ manya muggya we era yabalabye nga beeraga amapenzi.
Ng’oggyeeko munywanyi wange obutajjukira lwe yasemba kukulisaayo Misita ne Haaga, mbu bwe yazzizza akatambi emabega ku ngeri ‘Stock Empya’ gye yayambulamu omusajja ekkooti nga yenna amutunudde mu mmunye kyokka ng’amaaso ge gali mu kuloola buloozi. Yeepimyemu ng’okubaako ky’azze kujja kuba kusaasira kwa Katonda we. Embeera yatuukirira kuba kye yawulira ekiro ekyo nga beejavaana kyamulemesa okufuna ku tulo nga mwanamuwala akooloobya sipulaano z’omu kitanda.
Enkeera wa olwo omusajja mbu yeekengera okuleka munywanyi wange awaka si kulwa ng’aleetawo akacankalano. Yamulagira yeetegeke bagende bonna era yafuna omwagaanya okugenda nga boogerezeganya kuba ‘Stock Empya’ yasigala waka. Olwafuluma ggeeti munywanyi n’atandika okwegayirira okumusonyiwa kyokka omusajja ng’amugamba nti yamwegayirira ekimala akomewo awaka n’amubadala mbu ng’oluusi ateekamu n’okusooza. Misita yakalambira amuleke mu mirembe gye n’alayira obutadda mabega.
Munywanyi yatuuka n’okumwegayirira amukkirize bafumbe babiri awaka omusajja n’agaana era n’amulagira tadda mumaka ge.
Ekyaddiridde kyabadde kya munywanyi kunneegayirira mbu njogereko ne Misita osanga naamukkakkanya n’amuddiramu.
Okwogera n’omusajja nagukoledde ku ssimu, omusajja n’ayanika obuziina bwa munywanyi.
Misita yatandise bwati “ Sandra oyo munno si kyayinza kumwonoonerako ebiseera byange. Empisa zaamwesamba… bw’omunenyaako olwo ng’amala ennaku nga nnya nga muli mu lusirika. Nze bwe nkomawo awaka, mbeera njagala kweggyako situleesi ya
ku mulimu naye ye abeera mu kweronda. Bw’okomawo nga bukyali mbu leero toyitiddeeko mu malaaya zo, ate bw’olwayo mbu maama babadde bakyagaanyi okukuta... Sandra ononsonyiwa okwanika ennyo mukwano gwo ku by’omu kitanda! Okimanyi nti bwe kubeera kunyeenya kitanda, ye buli kiseera abeera mukalu. Yali yafuuka wa kwesaaba manya kwesonseka bireeta ‘maadi’.
Yalemwa n’okuvaamu obugambo nga ‘Daddy awo...’ Mubuulire kukaayuukira nti oli wakyamu....tosobola kuteeka watuufu. ‘can’t you use your common sense’.
Ono Princess eyayingiddewo bannange…… (yamuyise Shilla) ali ‘So wonderful’. Shilla akuwembejja wenna n’akuyingiza mmuudu eya
3- phase bwe gabeera masannyala-ze. Bwe bituuka ku kufukirira.....oli musuffu. Kasitiiriyo ayiwawo ka Lungereza. Bannange yamponya ebya munno okuntomezanga ebisenge. Emyezi gino ebiri gye tumaze ffembi abandabako bang’amba nti nnyirira ebya ddala. Bw’obeera ggwe oyinza okuddira omukazi oyo?’’ Mikwano, ebigambo byampeddeko.

Tags: