Obuvunaanyizibwa bw’okulabirira ab’omu maka ge n’okuwaayo ebyetaago byonna: Mu mbeera ngan’abakazi kati banoonya ssente, abasajja abamu basuula obuvunaanyizibwa bwabwe awaka ne babulekera abakazi nti nabo bakola kyokka nga kikakata ku basajja okukikola nga n’omukazi lw’aba ayambyeko, eriba kkatala lye.
l Okusasula omukazi ewaabwe: Ennaku zino abasajja babeera n’abawala
be baganza kyokka oluvannyuma ne babassa awaka era ne bazaala n’abaana nga tebeefiiriddeeyo kumanya na gye basibuka. Omusingi kwe bazimbira obufumbo bwabwe ne gubeera muyabayaba.
l Omusajja y’alina okuzimba ennyumba y’amaka ge so si kuleka mukazi kugizimba.
Aba leero, omusajja yeesogga enju y’omukazi gy’azimbye, nga takirinaamu buzibu bwonna n’atamanya na musingi ki kwe yateekebwa. Abamu, beesogga n’emizigo gy’abakazi gye beesasulira, ne batuula ne mu ntebe ze bataagula nga tebafuddeeyo kutuukirizibwa bubunaanyizibwa nti be balina okuwa abakazi amaka.
l Okusuulirira okusamba akapiira, amaka ne galemwa okufuna ku ssanyu: Ensobi
eva mu kino eri nti, omubiri bwe gubanja, ate abamu bagenda bbali ekireeta obutabanguko mu maka ng’omu ku bafumbo abalize.