Eby'amabaati g'e Karamoja tebinnaggwa: Kaliisoliiso waakufulumya alipoota ku nsasaanya y'ensimbi mu ofiisi ya Katikkiro Nabbanja
Apr 25, 2023
By Jaliat Namuwaya
Journalist @New Vision
Kaliisoliiso wa Gavumenti, Beti Olive Namisango Kamya akakasizza nti mu bbanga lya wiiki 3 agenda kufulumya ebivudde mu kunoonyereza okw'omuggundu ku nkozesa ya ssente mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda.
Mu lukung'aana lwa bannamawulire olutudde ku ssengejjero ly'amawulire ga Gavumenti ku Media Center mu Kampala Kamya agambye nti mu kunoonyereza kuno bo essira balitadde mu kutunuulira ssente gavumenti z'ezze ewa ofiisi eno okugula ebintu okudduukirira abantu abakoseddwa ebigwa tebiraze mu ggwanga.
" Twasalawo okugaziya ensonga eno tutunuulire ssente ezizze ziweebwa ofiisi eno , ku Karamoja yokka baaweebwa obuwumbi 39 mu mwaka gumu ate nga zaali za nnyongereza kati mu myaka 2 twagala kumanya obugazi bw'ensonga eno," Kamya bw'atangaazizza bannamawulire.
Mu kunoonyereza kuno era batunuulidde n'engeri ebintu gye byagulwamu , emiwendo gy'ebintu , eyabibaguza , obungi bwabyo ,omutindo gwabyo n'engeri gye byatambuzibwamu okubituusa mu masitowa gye baabitereka n'ekigendererwa eky'okulabira ddala oba tewaaliwo mbeera ya kukumpanya nsimbi mu ngeri emu oba endala .
Kamya era ategeezezza nti okunoonyereza ku kittavvu ky'abakozi ekya NSSF nakwo kwawedde, essaawa yonna baakukwasa Minista alipooti nnamutaayiika eraga ebyava mu kunoonyereza kuno oluvanyuma eyanjulwe eri eggwanga buli omu akimanye.
No Comment