Bya Benjamin Ssemwanga ne Kizito Musoke
ENKOZESA y’emmundu embi mu bakuumaddembe yeeyongedde okweyoleka, omukuumi wa kkampuni y’obwannannyini eya Capital Guard Security bw’avudde mu mbeera n’asindirira mukuumi munne amasasi ku mutwe agamuttiddewo ng’amulanga okumumalirawo emmere gye baafumbye.
Peter Ocholai ye yavudde mu mbeera n’akuba John Mujumbi amasasi ku mutwe n’afiirawo ku Lwomukaaga akawungeezi e Lukuli mu munisipaali y’e Makindye.
Ababiri babadde bapangisa ku nnyumba za Twaha Matovu nga we bava okugenda ku supermarket gye bakuuma eri mu kitundu kye kimu.
Nnannyini nnyumba Matovu yagambye nti yasoose kulaba Ocholai ng’anaaba amaaso ate Mujumbi (eyattiddwa) ng’ayoza essowaani kwe yaliiridde n’entamu mwe baabadde bafumbidde emmere.
Yawulidde Ocholai nga yeemulugunya ku munne nga bw’asusse okufumba emmere n’agimulyako yonna. Ekyaddiridde kwabadde kuwulira kibwatuka nga baagenze okusembera oluvannyuma amaaso gaatuukidde ku Mujumbi ng’akubiddwa essasi ku mutwe.
Ocholai yabadde adduse naye ng’emmundu zaabakuumi zombi ziri ku mabbali awo. Abakuumi bombi kyategeezeddwa nti babadde baamukwano ekyabawaliriza n’okupangisa ennyumba emu mwe basula.

Abaserikale Ku Muzigo Omukuumi We Yattidde Munne.
Kasim Ssekimpi, ssentebe wa LC I owa Sankala zooni yategeezezza nti abakuumi bano babadde bapya mu zooni ye nga tebannaba wadde okweyanjula mu bitabo bye kubamanya.
Poliisi ng’eduumirwa DPC we Kabalagala, Emmanuel Mafundo yakung’aanyizza ebyakozeseddwa byonna mu ttemu n’ategeeza nti batandise okunoonya agambibwa okuba omutemu.
OMUKUUMI ALUMIZZA OMUNTU E WANDEGEYA
Poliisi y’e Wandegeya yakutte Milton Apuret omukuumi wa kkampuni y’obwannannyini eya B-Safe Security Company eyakubye essasi eryakutte Geofrey Mwesigwa eyabadde ku bibye ng’atunda dduuka.
Byabaddewo Lwamukaaga akawungeezi ng’obuzibu bwavudde mu mmotoka okutomera eddirisa lya Supermarket ya TIPY NICE LTD SUPER MARKET eyagibaddemu n’ayagala okudduka.
Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala yagambye nti yakubye essasi bwe yabadde atangira mmotoka eyakoze akabenje okudduka. Kyokka ebyembi essasi lyasibidde mu dduuka eririraanyeewo ne likuba Mwesigwa eyalibaddemu ng’atunda.
Poliisi we yatuukidde nga Mwesigwa atwaliddwa mu ddwaaliro gy’afunira obujjanjabi. Kyokka baggyeewo ebizibi okuli emmotoka eyatomedde n’ekisosonkole ky’essasi era ne beekebejja ekituli ekyayiseemu essasi mu luggi lw’edduuka.
Apuret yakwatiddwa n’atwalibwa ku poliisi e Wandegeya ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso okuzuula ekituufu ekyabaddewo.