Amawulire

Maama atabukidde mukaamwana  ayagala kumugoba mu nnyumba bba gyeyamunzibira

Maama atabukidde mukaamwana  ayagala kumugoba mu nnyumba bba gyeyamunzibira

Ennyumba eyaseruukuluddwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUKAZI addukidde ku poliisi y’e Kasangati nga yeemulugunya ku nnyazaala we ne balamu be okubambulako ennyumba mw’asula amabaati n’okugikoonakoona nga baagala agiveemu ku kifuba.
Sarah Namutebi 38, akolera ku kizimbe kya Mapeera mu Kampala nga mukugu mu bya kompyuta n’okutuusa kati akyewuunya nnyazaala we Alice Namuganyi
Kironde, bwe yakwataganye n’abaana be (balamu be) ne babambula amabaati ku nju
n’okugikoonakoona. Agamba nti bano era babbye ebintu ebikalu okwabadde ssente ze 3,000,000/- ne Pawundi 1,500.
Bino byabadde Ssekannyonyi mu muluk  gw’e Mpererwe mu minisipaali y’e Kawempe
ku ntandikwa ya wiiki eno.
Namutebi yagambye nti baayagalana ne bba Jame  Ssebyala 45
omukozi mu bbanka enkulu okuva 2007 nga baasooka kupangisa e Kanyanya  mu Kitala. Oluvannyuma Ssebyala yasalawo okuzimba ku ttaka eryamuweebwa ng’omugabo era kwe baazimba ennyumba eno gye baabambudde. Yagambye nti gye buvuddeko bba yava mu maka gano olwo abooluganda lwe ne bakozesa akakisa kano
okumugobaganya.
Yagasseeko nti 2016 ng’amaze okuzaala omwana we
kati aweza emyaka 6, nnyazaala we, yatandikira okumusojja ng’amulanga okuzaala abaana abawala nga waliwo n’ebikolwa bye baali baagala okumuyingizaamu n’abaana
be bwe yabigaana ne bamuggulako olutalo.
Yagambye nti mu ffamire mulimu kaminsona w’amakomera ng’ono akozesa ofiisi ye okulaba nga bamugoba mu nnyumba n’abaana be. Agamba
nti ekisinga okumwewuunyisa kwe kuba nga bba ensonga zonna azimanyi naye tanyega.
Yagambye nti, alina ebiwandiiko ebiraga nti bba yaweebwa ettaka lino, wabula abaffamire baabikyusizza nga baagala okulaga nti ennyumba eyo yaabwe, ekitali kituufu kubanga ne lisiiti z’ebizimbisibwa bye baakoseza ezimu azirina.
NNYAZAALA AYOGEDDE
Alice Namuganyi Kironde yategeezezza nti enju eyo yiye era n’ebiwandiiko abirina. Yagambye nti yali yagiwa mutabani we Ssebyala agira abeerako era eri ku ttaka lya yiika nnamba. Yagambye nti eby’okugoba mukamwana we lwa kuzaala baana bawala si bituufu, wabula nti mukamwana ono azze amukolako effujjo omuli n’okumuwemula.
Yagasseeko nti baakola endagaano naava mu nnyumba eno kyokka gye yagenda teyabandaalayo n’akomawo ne kkufulu ezaaliko n’azimenya n’ayingira ku mpaka. Yagambye nti mukamwana ono amuyisizza mu bingi omuli n’okumuwaabira ku poliisi
ne bamusiba nga ne mu kiseeram kino ali ku kakalu ka poliisi.
OMWAMI WA NAMUTEBI ABYEGAANYE James Ssebyala bwe yakubiddwa essimu yawulirizza byonna ebyamugambiddwa ku nsonga eno n’agamba nti talina
ky’abimaanyiko era n’aggyako essimu
SSENTEBE WA LC AYOGEDDE Henry Ssejjemba ssentebe wa Ssekannyonyi zooni yategeezezza Bukedde nti ensonga zino bazze bazituulamu ng’era ateekateeka kuwandiikira ab’ebyokwerinda kuba waliwo obutakkaanya bungi obuyinza okuvaako abantu okufiirwa obulamu.