Abakulembezze b’obulabirizi bw’e Mukono n’abakulistaayo balaze obutali bumativu olw’engeri Minisita omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja gyeyakuttemu ensonga z’ettaka erikaayirwa abatuuze b’omu Kirangira n’ekkanisa ya St. Luke Town Church. Kino kidiridde Minisita Mayanja okulagira Ssaabalabirizi Dr. Kazimba Mugalu okuggyawo ekkanisa eno ekyaviiriddeko okukuula ebikondo ne sengenge eyali yassibwako ekkanisa mu kiro.