Ababaka ku kakiiko ka PAC bakunyizza abakungu ba Poliisi embeera z'abasibe mu kaduukulu

Ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensasanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo bavuddewo bubi nabakulu mu poliisi oluvanyuma lwa alipoota ya Auditor General okulaga nti poliisi 61 okwetoloola eggwanga zikyagattika abasajja n’abakyala mu buduukulu bwebumu ekirinyirira eddembe ly’obuntu. Sentebe w’ababaka ba palamenti abakyala Sarah Opendi alumirizza nti abakyala abafunira embuto mu buduukulu bwa poliisi beyongedde lwakubasuza wamu nabasajja.

Ababaka ku kakiiko ka PAC bakunyizza abakungu ba Poliisi embeera z'abasibe mu kaduukulu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision