Uganda ekulaakulanye etya nga tesudde buwangwa bwayo.
Dec 24, 2024
Okuwandiika ebiseera bya Uganda eby'omumaaso.

NewVision Reporter
@NewVision
Sisinkana Bukenya Sulaiman addamu okuwandiika ebiseera bya Uganda eby’omu maaso ng’abikwanaganya n’obuyiiya wamu n’obuwangwa bw’ensi eno.
Mu mulembe amawanga mwe gafuba okukulaakulana n’okukuuma obuwangwa, Bukenya Sulaiman avuddeyo ng’omukulembeze ow’enkyukakyuka akwataganya obuyiiya mu buwangwa .
Bukenya yazaalibwa nga February 15, 1985 e Busega mu Kampala, alina okwagala kwe eri eggwanga, muyiiya, alina obukugu okwetandikirawo emirimu, n’okwewaayo okusitula ebitundu bya Uganda ebisinga okubeera mu mbeera embi.
Omukugu mu kugula n’okutunda amayumba n’ettaka, ebyamasanyalaze, ayaniriza buli muntu, amanyi eby’obulimi, n’eby’amawulire, agattako okubeera nekirubirirwa kyokuletawo enkyukakyuka mu makolero ga Uganda gatukaane ku mutendera gw’ensi yonna. Obuwanguzi buli mu kuggumira embeera n’obwagazi bwe okulaba nge biseera bya Uganda bitangaavu era nga waliwo obumu.
Okuva ku ntandikwa ye entono yasobola okufuuka Ssentebe wa Uganda Online Investments Ltd era Dayirekita wa Uganda Online Media, Bukenya asobode okufuuka omukulembeze afaayo okulakulanya obuwangwa n’enkulakulana. Obukugu bwe buli nnyo mu makolero n’okuletawo enkyukakyuuka mu by’enfuna; era alumirirwa obuwangwa bwa Uganda, okugatta abantu baayo n’okusikiriza omulembe oguddako.
Olugendo lw’obulamu bwa Bukenya lukuzzaamu amaanyi kubanga bwa njawulo. Okufiirwa bazadde be ku myaka emito kyandibadde kyangu okumenya ebirooto bye, kyoka kyamuzaamu amaanyi okusituka okusinga ebizibu. Yasomera mu Kasana Primary School n’oluvannyuma neyeyunga ku Yunivaasite ye Makerere, wabula okwongera okunonya okumanya teyakoma awo. Yeyunga ku Yunivasite ya Yale ne y’e Amsterdam, gyeyeyongera okufuna obukugu mu bukulembeze.
"Obulamu bwange obw'obuto bwalimu okusomoozebwa," Bukenya bw'afumiitiriza. "Naye buli kizibu kyanjigiriza nti obutakirowozako nnyo. Uganda esaana abakulembeze abatamala abataloota nkyukakyuka wabula abakola okugituukiriza." Ebyo byoyitamu biyamba omuntu okulowoozaku ebyo Uganda byenebeera mu biseera eby’omu maaso,nga yeesigamiziddwa ku buyiiya n’okwenyumiriza mu by’obuwangwa.
Obukugu bwa Bukenya obw’okutandikawo emirimu kiraga busobozi bwe obw’okugatta obuyiiya n’emikisa awatali buzibu. Ng’ayita mu kkampuni ya Uganda Online Investments Ltd, ataddewo emitendera emipya mu bizinensi ze okuli ey’okutunda n’okugula ettaka n’amayumba, ebyamasanyalaze, n’okuzimba woteeri. Mu Pulojekiti ze tagenderera nnyo kufuna magoba gokka,zigenderera kutondawo enkulaakulana ey’olubeerera n’okutumbula obulamu.
Mu bizinensi ya by’amayumba n’ettaka, Bukenya atadewo enkulaakulana y’okutondawo embeera y’ebibuga Uganda. Eby’amasannyalaze bikyusizza enkola y’okukozesa tekinologiya ow’omulembe, n’aleeta ebintu eby’omutindo ogwa waggulu eri Bannayuganda ku bbeeyi ensaamusaamu. Mu kiseera kino, ssente z’ateeka mu kuzimba woteeri akyusiza engeri abantu gyebakyakalamu ne zisikiriza abalambuzi n’abasuubuzi okuva mu nsi yonna okujja mu Uganda.
Wabula emirimu gye asinze gikolera mu bukulembeze bwe mu Uganda Online Media. Ng’ayita mu mikutu egy’ayita ku mikutu gya yinteneti egiraga obuyiiya bwe,Bukenya ng’ayita ku mukutu bingi byalazze Uganda byetuseeko, omuli okutumbula eby’obuwangwa, n’okuleetera eggwanga okulyenyumirizaamu. "Uganda yeemu ku nsi ezisinga obulungi," bw'agamba. "Nga tuyita mu mikutu gya Uganda Online Media, emboozi ya Uganda okubeera ennungi tugitambuuza mu nsi yonna, nga tujjukiza buli muntu nti Uganda nsi erimu buli ekitasoboka."
Ekitufu Bukenya afaayo eri Bannayuganda. Yenyumiriza mu kuddiza ku bannayuganda era akikola buli kiseera ng’ayita mu nteekateeka ez’enjawulo, asitudde embeera z’abantu abatalina mwasirizi, n’abawa essuubi biseera byaabwe eby’omu maaso bibeere ebirungi.
Kaweefube ono yasinga kumukola mu zooni ya Kamwokya ne Mulimira, Bukenya yawa abaana abataliiko mwasirizi emmere, engoye, n’ensimbi. Kyokka. Abaana mu bitundi bino yabazaamu amaanyi okutandikawo bizinensi entonotono, okusobola okweyimirizaawo okwekiseera ekiwanvu. "Okuddiza n’oyamba abantu kizzaamu amaanyi," Bukenya bw'aggumiza. "Bw'owa abantu amagezi agabatuusa ku buwanguzi, oletaawo enkyukakyuka eya namaddala mu bitundu byona gyobikoze ."
Obuwerezza bwe butuuka ne ku by’enjigiriza,awa sikaala eri abayizi abatalina busoboozi , kusobola okutukirizza ebirooto byaabwe. Ng’ayita mu nteekateeka z’okutendeka abayizi mu kkampuni ye eya Uganda Online Investments Ltd, atendeka abantu okubeera nga basobola okwetandikirawo emirimu mu mirembe egiddako, ng’abawa obukugu n’okwekiririzaamu okusobola okuvuganya ku katale k’ensi yonna.
Omulimu gwa Bukenya gwakoze gusukka ku by’obusuubuzi n’okuyamba, ayagala nnyo obuwangwa bwa Uganda. Yenyumiriza mu kubeera muweereza wa Kabaka wa Buganda,Muwenda Mutebi Ronald II, yenyumiriza mu kukuuma n’okutumbula ebyobuwangwa bya Buganda. Enkolagana ye n’abantu ab’enkizo mu Bwakabaka naddala Omulangira David Wasajja ne Nnabagereka,eraga nti yeewaddeyo okukuma obumu n’okukuuma obuwangwa.
Ng’ayita mu nteekateeka eza Buganda Expo ne Miss Tourism Buganda, Bukenya alaze obuwangwa bwa Uganda ku mutendera gw’ensi yonna, ekikuzizza by’obulambuzi mu Uganda n’okulyenyumirizaamu."Obuwangwa bwaffe ge maanyi gaffe," bw'agamba."Bwetukuza obuwangwa bwaffe, tujukiza n'ensi yonna kiki kyetuli ne kyetuyimiriddeko."
Enkolagana ya Bukenya n’Abasiraamu mu Uganda naddala enkolagana ye n’Omulangira Dr. Kasiim Nakibinge, eyongera okulaga nti yeewaddeyo okulaga obumu n’okukulaakulana. Ka kibeere nga bayita mu nteekateeka z’eddiini oba pulojekiti z’okukulaakulanya abantu, emirimu gya Bukenya gikuza obumu, nagyujjukiza Bannayuganda okwegatta.
Bukenya Sulaiman asingako ku kyokubeera omusuubuzi wabula akuzizza eggwanga . byatandiseewo sibyakutekaawo bugagga bwokka; wabula byakukyusa ndabika ya Uganga ng’ensi erimu obuyiiya n’emikisa. Ng’ayita ku mikutu gya yintanenti egya Uganda Online Media okutuukira ddala ku pulojekiti z’okutunda n’okugula ettaka n’amayumba akulakulanyiza eggwanga, bwatyo nakyuusa endabika ya Uganda ey’omulembe ogujja mu maaso
"Ekirubirwa kyange bulijjo kubadde kutekaawo Uganda abaana baffe gye bayinza okwenyumirizaamu," Bukenya bw'agamba. "Uganda erimu obuyiiya , eyenyumiriza mu buwangwa bwaayo nga buli muntu asobola okubeera obulungi.
Ekirooto eky’omu maaso.
Nga Bukenya Sulaiman akyagenda mu maaso n’okuletaawo essuula empya mu olugendo lwe nga lukolanga ekyokulabirako eri Bannayuganda bonna. Obulamu bwe butujjukiza nti obuwanguzi tebupimibwa ku kusiimibwa muntu kwafunnye wabula bweyolekera ku mukululo gwalese.
Ye Bukenya, omukululo gwe gulabika: Ebuwangwa kyekimu ku bigatta Uganda awamu nga binywerezebwa abantu baayo, wamu n’okuletaawo obuyiiya. Emboozi y’obulamu bwe eraga ebyo ebisoboka, nga bwebatyo bannayugand balina okubeera n’okulowooza okuli waggulu ,bakole nnyo ebiseera bye ggwanga eby’omu maaso bibeere ebitangaavu,.
"Bintu bingi mu Uganda bisoboka," Bwatyo Bukenya bw'agamba. "Ebiseera eby'omu maaso okubeera ebitangaavu birina kukolebwa ffe, era bitandikira ku buli omu okukolera awamu okutukkiriza ebirooto byaffe"
No Comment