Betty Mpologoma asibye mukulu we Nassolo ku by'okubba ente

Feb 20, 2025

OMUYIMBI Phoebe Nassolo akwatiddwa n’asibwa ng’abeng’anda ze okuli ne muyimbi munne ate muto we, Betty Mpologoma bamulumiriza ku bubbi bw’ente.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUYIMBI Phoebe Nassolo akwatiddwa n’asibwa ng’abeng’anda ze okuli ne muyimbi munne ate muto we, Betty Mpologoma bamulumiriza ku bubbi bw’ente.

Phoebe nga ye yayimba Kwata wano ne Betty Mpologoma eyayimba Big Daddy, battunka nga Nassolo alumiriza Mpologoma okwekobaana n’abooluganda ne bamusiba nga bamulumiriza okubba ente za nnyaabwe, Nnaalongo Susan Mukamusoni abeera e Kabulassoke ku kyaloBukundugulu ku ludda e Maddu mu Gomba.

 

Nassolo eyabadde yaakava mu kkomera gy’amaze wiiki, yategeezezza nti ente ezaamukwasa nga February 11, omwaka guno ziri 11. Yanyumizza nga poliisi bwe yamugwako e Makindye n’emuyoola olw’ente ezaali zibbiddwa.

Nassolo alumiriza nti, abaana ba baganda baabwe be babba ente zino kyokka bwe baabakwata, agamba nti Mpologoma y’omu ku baabawa amagezi bagambe nti naye (Nassolo) yali mu lukwe. 

“Abaana baagamba nti nange nali mu lukwe nga bampaddeko n’akakadde kamu n’ekitundu ku ze baazitunda. Nziba ntya ente za maama ng’ate nze azze amujjanjaba. Ne mu nnaku enkulu ezaakaggwa saayimbye nga ndi mu kyalo mmujjanjaba. 

Awo we baagambidde nti nali ng’enze mu kyalo kukuba pulaani ebba ente!” Nassolo bwe yeewuunyizza. Yajjukidde oluyimba lwa Ragga Dee olwa ‘Gw’oggye mu kyalo, y’ayagala odde mu kyalo,’ lwe yagambye nti lutuufu
kubanga Mpologoma kati ayagala Nassolo adde mu kyalo gye yamuggya.

Nassolo ye mukulu wa Mpologoma era ye yamuleeta mu Kampala okutandika okuyimba.

Agamba nti bwe yakwatibwa e Makindye n’atwalibwa mu poliisi y’e Kibuye gye yamala olunaku lumu ne bamwongerayo ku y’e Kanoni gye yamala wiiki n’atwalibwa mu kkooti gye baamuteeredde ku kakalu ka kkooti ka 1,500,000/- eza buliwo n’ayimbulwa nga February 18.

Bwe yabuuziddwa oba awaayiriza Mpologoma, yazzeemu nti tamuwaayiriza kubanga ne baganda baabwe abazaala abaana ababbye ente ezoogerwako, nabo mu kkooti baabaddeyo kyokka Mpologoma y’ataabaddeyo ng’atya olw’okuwaayo omuntu atalina musango.

Mpologoma bwe yatuukiriddwa yazzeemu nti, tasobola kusiba mukulu we kubanga n’eby’ente tannabimuyingizaamu.

Yagasseeko nti ezo nsonga za kika z’atasobola kwogererako mu mawulire. “Nange nnumwa olw’okubinteekamu. Wadde babbye ente ezo naye ate eky’okumusiba anteekamu kiteeke.”

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});