Taata mutabani we gwe yabise ne yezza eby'obugagga akaabidde mu lukiiko!

Taata amaziga gamuyiseemu mutabani we bwe yamubika nga tannafa ne yeddiza emmaali ye yonna okuli amayumba g’abapangisa, n' akyusa n’ebyapa by’ettaka n’abizza mu mannya ge era n’atunda. RDC w’e Kajansi abiyingiddemu n’akunya buli eyeenyigira mu mivuyo gino nga ye omutabani bamutwalidde ku mpingu.

Taata mutabani we gwe yabise ne yezza eby'obugagga akaabidde mu lukiiko!
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Taata #Kajjansi #Mutabani #Kukaaba #Lukiiko