Eyali kaliisoliiso wa gavumenti Beti Olive Namisango Kamya ategeezezza nti okusoomooza okwamanyi kwe yasanga mu mulimo gw'obwakaliisoliiso kwekuba nga abantu bangi be yalina okunonyerezaako ku bulyake ate gye mikwano gye gy'awangadde nagyo.Bino abyogedde asiibula wofiisi ya kaliisoliiso mu Butongole.