Vidiyo

Ab'e Kayunga batenderezza PASS PLE wa Bukedde okuyisa abayizi ebigezo

Abasomesa mu masomero aga pulayimale e Kayunga bajjumbidde okugulira abayizi ebigezo bya P.7 ebya mmooko (Pass PLE) ebifulumira mu Bukedde ne bamutendereza bw’ayamba ennyo abayizi.

Ab'e Kayunga batenderezza PASS PLE wa Bukedde okuyisa abayizi ebigezo
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Abasomesa mu masomero aga pulayimale e Kayunga bajjumbidde okugulira abayizi ebigezo bya P.7 ebya mmooko (Pass PLE) ebifulumira mu Bukedde ne bamutendereza bw’ayamba ennyo abayizi.

Ku Canan Junior School erisangibwa mu Nazigo town council mu disitulikiti y’e Kayunga abayizi 117 be baatudde mmooko wa PASS PLE afulumira mu Bukedde era nga afundikiddwa ku Lwokuna.

Omu ku baddukanya essomero lya Canan junior School Sarah Naiga yatugambye nti ebigezo bino bitumbudde ensoma y’abayizi era kati bayitira waggulu kubanga buli abayizi lwe babituula, obubonero obuvaamu buyamba abasomesa okuzuula abayizi we batannaba kutereera bulungi era bakwatawo.

Tags:
Kusoma
PASS PLE
Bukedde
Kuyamba
Bayizi
Kayunga