Dr. Mukwaya alabudde abasawo ku bikolwa eby'okuyambako abaggyamu embuto

Ponsiano Nsimbi
Journalist @Bukedde
Oct 31, 2022

Bino yabyogeredde ku Rose Gardens e Kyengera bwe yabadde ayogerako eri abayizi abasoma obusawo ng'omukolo Ogwetabiddwako n'abazadde.

Yagambye nti kikyamu abasawo okwenyigira mu bikolwa eby'okutta abantu oba okuyambako abakikola kubanga kino tekikoma ku kukontana na mateeka agafuga abasawo ne ggwanga kyokka kimenya n'etteeka lya Katonda.

Dr. Mukwaya bano yabakubirizza  okubeera abagumikiriza nga bakulembeza eky'okutaasa obulamu bw'abantu mu kifo kya ssente n'agamba nti  mu mbeera ezimu kiyinza okubeetaagisa n'okukwata ku musaala gwabwe okuyamba abalwadde abamu.

Bannayuganda ab'enjawulo mu malwaliro ga gavumenti bazze beemulugunya ku nneeyisa y'abasawo naddala mu malwaliro ga gavumenti obutabafaako n'okubakanda ssente okubakolako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});