Asabye abavubuka okokomya obumenyi bw'amateeka

KANSALA w’Abavubuka abakyala mu Nakawa Dorah Solomy Nakagga awanjagidde bavubuka banne b’akiikirira okwewala okweyingiza mu mize gy’obumenyi bw’amateeka kibayambeko obutaweebuuka eri abantu be bawangaala nabo.

Kansala Nakagga
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision

Nakagga ategeezezza nti awulira okwemulugunya ku bavubuka abamu abatambula n’ebissi omuli ebiso n’obwambe n’ekigendererwa eky’okutuusa obulabe ku bantu abo bebateebereza obubeera n’ensimbi n’oluvannyuma bazibabbeko ky’agamba nti kino kibeera kityoboola embeera z’abavubuka n’alabula abakikola okukikomya.

Ategeezezza nti omuntu yenna abeera atambula n’ekissi ne bw’abeera nga takikozesezza kibeera kitegeeza nti afuuse mussi nga omuntu eyeeyisa mu mbeera ezo abeera asaana kukwatibwa era avunaanibwe kubanga aba yeetadde mu mbeera z’abamenyi b’amateeka.

Kyokka bino Nakagga abitadde ku mbeera z’abavubuka abamu abatayagala kukola n’ategeeza nga bano bwebabeera balinda ebiwedde nga kino kyekibareetera okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.

Akuutidde abavubuka bonna okufuba okulaba nga bafuna eby'okukola kubanga buli omuntu lw’abeera awo nga talina byakukola kireetera ebirowoozo byabwe okuyingiramu ebikemo ebibasendasenda okuyingira mu bumenyi bw’amateeka.

Nakagga akukkulumidde abantu abavumirira pulogulamu za gavumenti nti kye bakola kikyamu n’asaba abavubuka okubyettanira kubanga bireetebwa kubakulaakulanya.