Abatuuze Be Kireka Kamuli Zone C baguddemu ekikangabwa oluvanyuma lw’ekimotoka okulemelerwa omugoba waakyo ne kitomera Gate ye ssomero omwana omu n'afiirawo.
Enjega eno egudde ku ssomero lya Candy Kids Nursery and Primary School nga kimotoka ekibadde kitisse ensawo z’obuwuunga ekika kya Mitsubishi Canter namba UAZ 896J bwekilemeredde omugoba waakyo ne kiyingira Gate ye ssomero.
Ekimotoka ekikoze akabenje
Akabenje kano kabaddewo ku ssaawa emu ne ddakiika nga kkumi ez’okumakya nga omwana afudde wa myaka 7 Nakafeero Robinah abadde mu kibiina kya P2 abadde akedde okusoma nga bulijjo.
Wetutuukidde ku ssomero lino tusanze Police ye Kira etuuse nga etandise okujja ekimotoka kino wekyakoledde akabenje wakati mu batuuze kwosa n’abatwala essomero lya Candy mu kusoberwa.
Twogeddeko n’abamu ku bakulembeze mu kitundu kino okuli ne difensi w’ekyalo Kamuli C Mbogo Paul kwosa kanasala wa Kamuli C Mawejje Farouk bategezeza nga akabenje kano bwe kavudde ku Bukono bwe mmotoka eno okukutuka netandika okuyilingita .
Essomero eritomeddwa ekimotoka
Bategezezeza nga Ddereeva we mmotoka eno atategerekese manya bwalabye emutabuseeko agibuseemu bwetyo neyingira ekikomera kye ssomero lino netta omwana abadde ayingira mu geeti.
Amyuka omwogezi wa Plolice mu kampala n’emiliraano Luke Oweyesigire akakasiza akabenje kano nategeza omugoba w’ekimotoka kino bwamaze okukwatibwa nga n’omulambo gw’ebbujje gutwaliddwa Mulago okwongera okwekebejjebwa