Omutaka w'e Kyengera yeebazizza Katonda olw'okumusobozesa okuweza emyaka 101

22nd May 2023

OMUSUMBA w’obusumba bw’e Mugongo, Samuel Kalibbala asabye abantu abalina emitima gy’ekko okwenenya eri Katonda abayambe basobole okukyusa obulamu bwabwe.

Omutaka Catherine Namukasa (ayambadde) galubindi nga yeebaza Katonda
By Denis Kizito
Journalists @New Vision
1 views

OMUSUMBA w’obusumba bw’e Mugongo, Samuel Kalibbala asabye abantu abalina emitima gy’ekko okwenenya eri Katonda abayambe basobole okukyusa obulamu bwabwe.

Omusumba Kalibbala okwogera bino yabadde akulembeddemu okusaba mu kitundu ky’omu Kinaawa ekisangibwa mu Town Council y’e Kyengera omutaka Catherine Namukasa bw’abadde yebaza katonda amusobozesezza okuweza emyaka 101 egy’obukulu.

Omusumba Kalibbala ategeezezza nti abantu bangi bakola ebikolwa eby’ekko eri bannaabwe omuli ettemu, obubbi, n’obutagaaliza ky’agambye bye bimu ku bikolwa ebiraga omuntu atamanyi Katonda bw’atyo n’asaba abantu b’emitima nga gino okwenenya Katonda abayambe babimale.

Ono asabye abantu mu kitundu kino okwekwata ku Katonda naddala mu mbeera nga bafunye ebisoomooza ebiyinza okubaviirako okukola ebikolwa ebitagendera ku mateeka ga Mukama katonda.

Eric Lutakoome, amyuka ssentebe asabye abantu b’omu kitundu kino okulabira ku mukadde Namukasa nabo bakole ebikolwa by’ekisa n’okwagala bantu bannaabwe olwo nabo Omukama asobole okubawa ebirungi.

Lutakoome asinzidde mu kusaba kuno n’akubiriza abatuuze okwenyigira mu bibiina by’obwegassi basobole okweggya mu bwavu.

Ye omujaguza asiimye Katonda amusobozeseza okutuuka ku kkula lino.