Ezimu ku nguudo ezigenda okukolebwa

KCCA olufunye obuwumbi 1000, n’etongoza omulimu gw’okuddaabirizaenguudoennene n’entono eziwera 134 okwetooloola ggombolola zonna ettaano ezikola Kampala.

Oluguudo oluyita ku nnyanja ya Kabaka olwatongozeddwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

KCCA olufunye obuwumbi 1000, n’etongoza omulimu gw’okuddaabirizaenguudo
ennene n’entono eziwera 134 okwetooloola ggombolola zonna ettaano ezikola Kampala.
Omulimu ku nguudo ezimu gwatongozeddwa Minisita wa Kampala, Hajjat Minsa Kabanda, Loodi mmeeya Erias Lukwago ne dayirekita wa KCCA Hajjat Sharifah Buseki. Ensimbi zino zaaweereddwaayo Gavumenti ya Bungereza mu kitongole kya United Kingdom Export Finance. Zijjidde mu pulogulaamu eya Kampala City Roads and Bridges Upgrading Project (KCRBUP) nga zikola kiromita 127.
Endagaano wakati wa KCCA ne kkampuni egenda okukola enguudo zino okuva e Bungereza eyitibwa M/S COLAS LTD (UK) zassiddwaako emikono wakati w’abakulira KCCA okuli; Minisita Kabanda, Lukwago ne Buzeki ku lwa KCCA ate omumyuka w’omubaka wa Bungereza mu Uganda, Tiffany Kirlew n’assaako omukono ku lwa Bungereza. Kabanda yeebazizza Bungereza okubadduukirira n’ensimbi zino era n’asaba nti kkampuni ya Colas ekolagane ne kkampuni za bannansi okukola emirimu.

Ezimu kunguudo

Ezimu kunguudo

Lukwago yalaze obwetaavu obuliwo ku nguudo mu Kampala n’ategeeza nti KCCA ekyayagala ssente nnyingi.
Ensimbi zino zegasse ku pulojekiti ennene endala ezikolebwa okuli eya Greater Kampala Meteropolitan Area Urban Development Program (GKMA-UDP) ne Kampala City Roads Rehabilitation Project (KCRRP) omukolerwa enguudo, ebitaala n’emyala ekiseera kino. Lukwago yagambye nti enteekateeka y’okukulaakulanya ekibuga eyamuleeta naddala ku nguudo, agenze azitereeza era singa ssente zino zikozesebwa bulungi Bannakampala bagenda kutambula bulungi n’obulipagano bukendeezebwe era ayagala buli kaguudo mu kibuga lukubwe koolansi 

Ezimu ku nguudo ezigenda okukolebwa