Olumbe olwasse Kula lwatandikidde ku kituuti

Jun 20, 2021

Olumbe olwasse Kula lwatandikidde ku kituuti.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

Bya Basasi baffe

PAASITA Imelda Namutebi olwamubikidde bba n’azirika era yamazeeko ekiro kyonna nga tamanyi bifa ku nsi.

Ambrose Tugume, yategeezezza Bukedde nti, omusumba yafunyeemu ekyekango ng'afunye amawulire g'okufa kwa bba Tom Kula kyokka we bwatuukidde ku Lwokutaano ku makya ng'atereddemu wadde nga yabadde akyali munafu.

Kula aziikiddwa olwaleero ku kkanisa  ku Kkanisa ya Liberty Worship International
Church e Lugala .

Omugenzi Kula Ne Mukyala We Nga Babuulira Ekigambo.

Omugenzi Kula Ne Mukyala We Nga Babuulira Ekigambo.

Abagoberezi Nga Bali Ku Kkanisa Ya Liberty Worship Centre Bategeka Okusabira Kula.

Abagoberezi Nga Bali Ku Kkanisa Ya Liberty Worship Centre Bategeka Okusabira Kula.


KULA AFUDDE BULWADE BWA PULEESA
Omusumba Kula abadde aludde ng'atawaanyizibwa obulwadde bwa puleesa era nga kigambibwa nti, buno buli mu famire yaabwe era bubadde buluma ne kitaawe Kiiza
era nga Kula y’abadde amujjanjaba.

Yakoma okubuulira ku Ssande ku mutimbagano, mu saaviisi esooka ebeerawo okuva ku ssaawa 2:00 okutuuka ku 4:00 ez'oku makya, kyokka yagenda okuva ku katuuti nga teyeewulira bulungi.
 Paasita Namutebi yasooka n’amulagira okugendako mu ddwaaliro eriri ku kkanisa n’afuna obujjanjabi obusookerwako.

Omusawo we yamulagira okugenda mu ddwaaliro e Lubaga, ne basooka bamukebera corona nga tamulina, kyokka puleesa ye ng'eri waggulu nnyo mu 200. Baamulagira okudda awaka okuwummula era okuva olwo abadde waka nga w’afunira obujjanjabi.

Yatabuse ku Lwokusatu ekiro era ne bamuddusa mu ddwaaliro e Lubaga gye yafiiridde ku Lwokuna ku ssaawa 8:00 ogw'emisana.

EMBEERA KU KKANISA
Ku kkanisa embeera yabadde ya kiyongobero mu bagoberezi n'abasumba banne.
Nga buli omu yeewuunya ekisse omusumba waabwe ataalwadde era abamu baasoose kulowooza afudde kirwadde kya corona kyokka ne bakizuula nti yafudde bulwadde
bwa puleesa.

Olw'ekirwadde kya corona buli atuuka, wabadde wateereddwaawo ekitabo wabweru w'ekkanisa mwe bawandiika era abamu obwedda bwe bamaliriza okubuuza ku be basanzeewo nga batambula bagenda ate abaabadde basigaddewo nga batuula mu ngeri y'okwewa amabanga.

Amaka Ga Bakula E Lubowa.

Amaka Ga Bakula E Lubowa.

EKIRI MU MAKA GA KULA E LUBOWA
Embeera mu maka gw'omusumba Tom Kula owa kkanisa ya Liberty Worship e Lugala Masanafu ya kimpoowooze.

Amaka gano kw’okomya amaaso gasangibwa Lubowa mu Regina Estate era ng'okugatuukayo oyita ku ggeeti bbiri ezikuumibwa abaserikale abeemmundu. Mu estate eno mulimu ennyumba eziwerako nga ku ggeeti ya Kula waliwo abaserikale
abakuuma, amazzi aganaaba mu ngalo ne sanitayiza.

ENGERI NAMUTEBI GYE YAFUNA KULA
Ng’omusumba Imelda Namutebi tannava Mengo, mu kifo ekyali kyakazibwako Ku-Nfudu we yasooka okukola ekkanisa ye eya Liberty Worship Center bwe yali
tannagizza Lugala mu ggombolola y’e Lubaga, yasaba endigaze ezirina abaagalwa abatali balokole babatwaleyo Yesu abakwateko.

Muno n’eyali mukyala wa Tom Kkula mwe yagendera ne bba oyo eyasanyuka n’atandika n’okusiga mu kkanisa ensigo ezaameruka.

Mu budde obwo, abasumba baali batandise n’okusiga emmotoka mu bantu era Kkula yasiga n’emmotoka ekika kya Mazda mu kuzimba ekkanisa.

Gye byakkira ng’enkolagana ye ne Namutebi esusseewo ne bakola omukwano ogwaleka eyali mukyalawe n’abaana nga bakaaba olw’okumupasulako bba.

Oluvannyuma baatuula ensonga ne bazituulamu n’omukyala eyali akola mu bbanka emu ne bamufunira engeri gy’anaalabiriramu abaana ne bakiggala.

Mu budde bwe bumu kkampuni ya Vision Group ng’ewandiise emboozi eyo, waliwo abaasiiwuukira empisa ku kkanisa ne bakuba munnamawulire waayo, Nicolas Kajoba
eyali agenze okukuba abaagalana (Namutebi ne Kkula) ebifaananyi.

Kajoba agamba nti emboozi yali emaze okufuluma mu New Vision n’agenda ku kkanisa kyokka bwe yalaba Namutebi ku katuuti ng’ayimiridde ne Kula kwe kuggyayo
kkamera anasule ne bamubaka ebyaddirira kukubwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});