Minisita Mayanja atongozza ekitabo ekikwata ku nsonga z'ettaka
Jun 04, 2025
Ekitabo kino ekikubiddwa kkampuni ya Vision Group, kituumiddwa 'Tegeera Ensonga z'ettaka mu Uganda ', era nga kiwandikiddwa mu luganda, okusobozesa Bannayuganda naddala wano mu Buganda okukisoma.
By Godfrey Kigobero
Journalist @New Vision
MINISITA omubeezi ow'ebyettaka Dr. Sam Mayanja, leero, antongozza ekitabo ekikwata ku nsonga z'ettaka mu Buganda.
Ekitabo kino ekikubiddwa kkampuni ya Vision Group, kituumiddwa 'Tegeera Ensonga z'ettaka mu Uganda ', era nga kiwandikiddwa mu luganda, okusobozesa Bannayuganda naddala wano mu Buganda okukisoma.
Koppi eziwera 5,000 ze zifulumiziddwa era nga baakwongera okuziwandiika ne mu nnimi endala , okusobozesa ne Bannayuganda abalala, ekitabo kino okukisoma, bamanye ensonga z'ettaka nga bwe zitambula.
Minisita Mayanja eyatongozza ekitabo.
Minisita Mayanja, ategeezezza nti obusambattuko mu nsonga z'ettaka, businze kulabibwako wano mu Buganda nga kino , kivuddeko ku njuyi zombi , okuli nannyini ttaka okuweebwa obwannanyini ku ttaka so ng'ate n'owekibinja, naye amateeka gamuwa obwannanyini ku kibanja kye.
Asiimye Pulezidenti Museveni okumuwa omwagaanya n'asobola okulungamya n'okusomesa Bannayuganda ku nsonga z'ettaka era ne yeebaza kkampuni ya Vision Group , nayo emuyambye okuwandiika ekitabo kino, n'okumuwa omwagaanya ku mikutu gamba nga ogwa Bukedde radio, olupapula n'asobola okutuusa ensonga ku bantu.
Ye akulira ebigenda mu kyapa mu kkampuni eno, Umaru Luyimbaazi nga y'abadde ku lw'akulira kampuni Don Wannyama, agambye nti ekitabo, kino, kyakuyamba okukendeeza enkaayana n'obusambattuko obususse ku ttaka olw'engeri gye kirambikiddwamu mu lulimi olutegeerekeka.
Agasseeko nti , bangi ku Bannayuganda, naddala mu Buganda, baakukisoma kuba kiwandiikiddwa mu luganda lwe bategeera obulungi n'agattako nti ebimu ku bizibu bye basanga, ge mateeka ge bagoberera okubeera nga gali mu Lungereza.
Dr. Mayanja, awerekeddwako ttiimu okuva mu minisitule y'ebyettaka, okuli Dennis Obo ng'ono y'akiikiridde omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule eyo.
No Comment