Abataka batabukidde Buganda Land Board okutunda ettaka ly’ebika
Jun 02, 2025
ABATAKA b’obusolya mu Buganda batadde ekitongole kya Buganda Land Board (BLB) ku nninga nga bakirumiriza okutunda n’okusaanyaawo ettaka ly’ennono.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision
ABATAKA b’obusolya mu Buganda batadde ekitongole kya Buganda Land Board (BLB) ku nninga nga bakirumiriza okutunda n’okusaanyaawo ettaka ly’ennono.
Balumiriza nti, ebifo bingi ebizze bisaanyizibwawo ng’ekitongole kino kitunula.
Bino byabadde mu nsisinkano wakati w’Abataka ne BLB eyabaddewo ku Bulange, abakungu ba BLB bwe baabadde bayitiramu Abataka ku bikwata ku ttaka.
Omukungu wa BLB, Bashir Juma Kizito yabuulidde Abataka ku buvunaanyizibwa bwabwe okuli okutaasa n’okukuuma ebifo by’ennono, wabula Omutaka Samuel Walugembe nga ye Ssaababiito w’e Kibulala ye yasoose okwambalira aba BLB nti, bakoze kinene ku kusaanyawo ettaka ly’Ebika n’anokolayo ebifo okuli e Bumera-Busiro, Lusiiti-Kyadondo, enkaayana eziri ku butaka bw’Ekika ky’Empologoma e Lwadda-Matugga mu Kyadondo n’ebirala.
Mu kwanukula, Kizito yasabye BLB ereme kukozesebwa ng’ekyangu eky’okukuba n’okusiiga ettoomi kubanga mu buvunaanyizibwa bwe balina, tebatunda ttaka liri mu kiti kino era tebigabibwako kyapa kyonna wadde liizi.
Kizito yasonze mu Balangira n’abantu b’ebika ebibeera bivunaanyizibwa ku bifo nga be bakulembeddemu okutunda n’anokolayo Omulangira Bemba ne banne ku ttaka lya Jinja Mawuuno e Kawempe nga bwe baateekako abasenze ng’ate mu 2010 ekifo tekyaliko basenze!
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika, Omutaka Augustine Kizito Mutumba Namwama yasabye BLB okutondawo akakiiko akanaavunanyizibwa ku kulondoola ebifo by’ennono byonna mu Bwakabaka bisobole okutaasibwa.
“Tusaba Buganda Land Board eteekewo kamisoni ebeere ng’evunaanyizibwa ku kunoonyereza ku bifo by’ennono bikuumibwe bulungi, bireme kutundibwa eri abantu abalala kuba kino kivaako okusaanawo kwabyo,” Namwama bwe yasabye.
Ezimu ku nsonga, Kizito zaatasobodde kwanukula ky’ekibuuzo ky’Abataka ku ttaka ly’Obutaka eriri mu mikono gya BLB ng’ate Ebika byagala okulifunako obwannannyini.
Ebika ebirina Obutaka obuli mu mikono gya BLB kuliko; Empologoma e Lwadda-Kyadondo, E Bukesa-Buteesasira e Butambala mu Kika ky’engo, e Bulimu-Kyaggwe mu b’Ennyonyi Ennyange ate n’ekibe mu Kyaggwe.
Abataka era baayagadde okumanya engeri gye bayinza okuganyulwa mu nsimbi eziva mu ttaka eryo eriddukanyizibwa Buganda Land Board n’ebirala.
No Comment