Aba NUP 9 bakwatiddwa e Ntebe ku by'okweyisa nga ekitagasa

May 27, 2025

ABAWAGIZI b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mu kibuga ky’e Ntebe basattira oluvannyuma lwa poliisi okukwata abakulembeze baabwe 9 n’ebaggalira.

Bukkedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

ABAWAGIZI b’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mu kibuga ky’e Ntebe basattira oluvannyuma lwa poliisi okukwata abakulembeze baabwe 9 n’ebaggalira.

Baakwatiddwa poliisi y’ekisaawe ky’ennyonyi eya Aviation Police
(AVPOL) nga kigambibwa nti baabadde bakubye olukung’aana olutali mu mateeka.

Babirye Yakwatiddwa.

Babirye Yakwatiddwa.

Omwogezi wa NUP e Ntebe, Daizy Aloyo yagambye nti baabadd ebagenze e Kigungu okusunsula abagenda okuvuganya ku bifo eby’enjanjawulo ku bukiiko okuva mu munisipaali y’e Ntebe nga ebifo bino kuliko; amyuka ssentebe, omuwandiisi, omuwanika ow’ebyamawulire n’ebifo ebirala, ng’awamu baabadde baakusunsulamu abantu 9, ekitaasobose.

Be baabadde bagenda okulonda baabadde baakukulembera ebitundu okuli; Mayanzi, Kigungu Central, Old Entebbe ne Misolo.

Masaazi Eyakwatiddwa.

Masaazi Eyakwatiddwa.

Wabula akulira okukunga bannakibiina e Ntebe, Geoffrey Ssengendo yabadde yaakatandika okusoma abagenda okusunsulwamu, poliisi n’etuuka ne babasaba omuntu omu ayogereko nabo.

Baaweerezza Stuart Lubwama ne Robert Masaazi wabula poliisi n’ebakwata ssaako Lillian Babirye, Tadeo Kibirige, Andrew, Fred Barigye ne Yahaya Kitaka.

 

Omumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakasizza okukwatibwa kw’abantu bano era nga bavunaanibwa omusango gw’okufuuka ekitagasa era baakutwalibwa mu kkooti ssinga okunoonyereza kunaaba kuwedde.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});