Nabbanja asasudde, akubye ssimu n'ayiwako

‘HALO nze  Katikkiro wa Uganda, ofunye ssente ku ssimu yo?  Ziri mmeka? Obeera wa? Okola mulimu ki?’ Bwatyo Katikkiro wa Uganda Robina Nabbanja bwe yabuuzizza Godfrey Oloya ow’e Gulu omuvuzi wa bodaboda gwe yakubidde essimu oluvannyuma lw’okumuweereza ssente.

Nabbanja asasudde, akubye ssimu n'ayiwako
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Nabbanja asasudde

Bya KIZITO MUSOKE  ne  WILSON  W. SSEMMANDA  

‘HALO nze  Katikkiro wa Uganda, ofunye ssente ku ssimu yo?  Ziri mmeka? Obeera wa? Okola mulimu ki?’ Bwatyo Katikkiro wa Uganda Robina Nabbanja bwe yabuuzizza Godfrey Oloya ow’e Gulu omuvuzi wa bodaboda gwe yakubidde essimu oluvannyuma lw’okumuweereza ssente.  

Oloya yagambye nti yafunye 102,050/- ku ssimu , Nabbanja n’amukakasa nti eziyise mu 100,000/- zigenda kumuyambako mu kuggyayo asobole okusigaza ssente ze nga tezikwatiddwaako.  

Eno ye yabadde entikko ya ssente za Covid ezibadde zifuuse gannyana olw’obutatuuka. Zaali zaakuweerezebwa  Lwakubiri ne bazikyusa okudda ku Lwokuna (olwaleero).  

Minisita omubeezi  ow’ekikula ky’abantu, Okello Engola ate n’abitabula ng’ali mu kakiiko ka Palamenti ku Lwokusatu bwe yagambye nti bajja kutandika okusindika ssente mu bbanga lya wiiki emu nga bamaze okutereeza enkalala.  

Olwaleero ku ssaawa 5:45 ez’oku makya, Nabbanja  anyize eppeesa lya kompyuta erisooka  ezigenze ku bantu 10 abaasoose.  Olwamaze okunyiga n’agamba nti “ ‘kiwedde’ wakati mu kusakaanya okuva mu bakungu abalala.  

Dennis Okumu Ojok owe Gulu ye yabadde owookubiri okukwata essimu. Yategeezezza nti mulimi era nga muvuzi wa bodaboda.  

Denis Opira ow'e Apac nga naye muvuzi wa bodaboda  naye baamukubidde essimu  n’akkiriza nga bwe yabadde afunye ssente za Covid ku ssimu ye.  

Kyokka waliwo be baakubidde essimu nga teziriiko ate omu yabadde agyogererako ne batasobola kumufuna.  

Nabbanja nga tannaba kusindika ssente yasoose kusaba  b’akitongole kya NITA abavunaanyizibwa okukwataganya ebya tekinologiya mu ggwanga bamubuulirire engeri abantu gye baabadde bawandiikiddwa mu bitundu eby’enjawulo.  

Omuwendo gw’amaka agawera 128,075 be baabadde baakawandiikibwa mu ggwanga lyonna ku maka 501,207 be baluubirira okuyamba.  

E Makindye baabadde 2241, Nakawa-06, Kawempe-00, Mbarara-2694, Busia-1162, Gulu-11618, Lira-2805, Mukono-2044, Hoima-4719, Masaka-3232, Mbale-2884, Kampala Central-2112, Kira-9302, Lubaga-232 ne Mubende munisipaali-5350.  

MUKOZESE BULUNGI SSENTE EZIBAWEEREDDWA 

Nabbanja yasabye abantu abafunye ssente okuzikozesa obulungi nga zibayamba okusobola okuvuunuka embeera gye balimu mu kiseera kino eky’omuggalo.  

Abantu abaludde nga balinda ssente, yabagumizza nti ekiseera kimaze ne kituuka nga bwe yasuubiza.  

Katikkiro yasiimye omukulembeze w’eggwanga olw’okuvaayo n’ayamba abantu abanyigiriziddwa olw’embeera.  

Kkampuni za masimu eza Airtel ne MTN nazo z’asiimiddwa olw’okukkiriza obutasala ku ssente z’abantu abanaasangibwa nga balina amabanja ga kkampuni.  

Akakiiko ka Covid ak’eggwanga kagenda kuddamu okutuula leero , kasalewo ku lunaku lwe bajja okukoma okusunsula amannya g’abanaafuna ssente.  

George William Kiyingi owa Post Bank yagambye nti abatono abatalina ssimu bagenda kubatwalira ssente mu bitundu gye babeera nga bakozesa emmotoka  zaabwe.  

Betty Amongi  minisita w’ekikula ky’abantu yagambye nti ssente tezigenda kutuuka ku buli muntu alina bwetaavu, wabula bagenda kuzigabira abatono  abalina mirimu egyakosebwa oluvannyuma lwa Pulezidenti okulangirira omuggalo.   

Dr. Chris Baryomunsi  yasekeredde ababadde balowooza nti ebya ssente za Covid byakusaaga n’abasaba okuddayo okugamba bannaabwe nti; Nabbanja asasudde.  

Abamu ku bakozi b’emirimu abagenda okufuna ku ssente za covid mulimu; abavuzi ba boda boda, abavuga takisi/bbaasi  ne ba kondakita, abasomesa, abayimbi, abategesi b’ebivvulu, abasituzi b’emigugu, abakola mu ppaaka, aba saluuni n’abalala.