Katikkiro Nabbanja anunude omukazi eyasibwa ku by’okutunda ekibanja kye

KATIKKIRO wa Uganda Robinah Nabbanja asasudde obukadde 2.8 n'anunula  Getrude Nalule okuva mu kkomera Luzira eyasibwa emyezi 6 n’okusasula obukadde 2.8 oluvannyuma lw'okusingisibwa omusango gw'okwegaana okutunda ekibanja kye eri muliraanwa we Godfrey Bazaale.

Getrude Nalule ng'afukamidde okwebaza Katikkiro Nabbanja okumuggya mu kkomera. Ku ddyo Aminah Lukanga, minisita Minsa Kabanda, Sulaiman Walugembe ne Anderson Burora.
By Edward Luyimbaazi
Journalists @New Vision
#Katikkiro Nabbanja #anunudde #eyasibwa #kibanja

Bya Edward Luyimbaazi

KATIKKIRO wa Uganda Robinah Nabbanja asasudde obukadde 2.8 n'anunula  Getrude Nalule okuva mu kkomera Luzira eyasibwa emyezi 6 n’okusasula obukadde 2.8 oluvannyuma lw'okusingisibwa omusango gw'okwegaana okutunda ekibanja kye eri muliraanwa we Godfrey Bazaale.

Nabbanja okununula Nalule yasinzidde ku pulogulaamu ya Fayiro ku mmeeza eyalagibwa ku ttiivi ya Bukedde ng’abaana ba Nalule ng’abakulembeddwaamu Florence Namutebi abalaajan,a nga balumiriza omugagga Bazaale okusibisa maama waabwe nga  tebalina muntu eyali asobola kubalabirira.

Omulamuzi wa Amon Mugezi owa Mwanga II e Mengo ye yasala omusango guno oluvannyuma lwa Nalule omusango guno okumusinga.

Omu Ku Batuuze B'e Namungoona Ng' Akulisa Getrude Nalule Ali N'abaana Be Okuva Mu Kkomera E Luzira.

Omu Ku Batuuze B'e Namungoona Ng' Akulisa Getrude Nalule Ali N'abaana Be Okuva Mu Kkomera E Luzira.

Nabbanja bw'atuuse ku kkooti e Mengo yeevumbye akafubo n’akulira kkooti ya Mwanga II, Patrick Talisuna, Minisita wa Kampala Minsa Kabanda, ababaka ba Pulezidenti mu Kampala nga bakulembeddwa Aminah Lukanga wamu n’omulamuzi Mugezi eyasala omusango guno nga mu kafubo kano temukkiriziddwaamu baamawulire.

Oluvannyuma Nalule aleetedddwa okuva mu kkomera e Luzira gy'abadde yasibibwa era ng’ono mu maziga yeebaziza Nabbanja olw’okumununula okuva mu kkomera.

Getrude Nalule Ng'ayebaza Christine Nakonde  Okumulwanirira Ng'asibddwa Mu Kkomera Luzira

Getrude Nalule Ng'ayebaza Christine Nakonde Okumulwanirira Ng'asibddwa Mu Kkomera Luzira

Nabbanja alabudde abantu okujjanga mu kkooti okuwa obujulizi singa bawawaabiddwa kubanga singa Nalule yajja mu kkooti omusango tegwandimusinze, n'asibwa ebbanga eryo lyonna.

Oluvannyuma Nalule atwaliddwa mu makaage e Namungoona gyayaniriziddwa abaana be wamu ne Nnabakyala wa Zooni eno, Christine Nakonde ne yeebaza Bukedde Ttivvi eyalaga okwemulugunya kwa Nalule.