Essomero lya Trinity College Nabbingo lijaguzza emyaka 82 bukyanga litandikibwawo

Essomero lya Trinity College Nabbingo lijaguzza emyaka 82 bukya ligunjibwawo. Lyatandikibwawo Omwepiskoopi Edward Michaud ow’ekibiina ky’Abaminsane ba White Fathers, n’ekigendererwa ky’okugunjula omwana omuwala eyali alekeddwa ennyo emabega mubiseera ebyo. Omukolo ogw’okujaguza gw’abadde ku ssomero lino erisangibwa ku luguudo lw’e Masaka, mu disitulikiti y’e Wakiso ku Ssande nga June 16 (2024).  

Bannaddiini nga basala Cake ku ssomero lye Nabbingo
By Mathias Mazinga
Journalists @New Vision

Essomero lya Trinity College Nabbingo lijaguzza emyaka 82 bukya ligunjibwawo. Lyatandikibwawo Omwepiskoopi Edward Michaud ow’ekibiina ky’Abaminsane ba White Fathers, n’ekigendererwa ky’okugunjula omwana omuwala eyali alekeddwa ennyo emabega mubiseera ebyo. Omukolo ogw’okujaguza gw’abadde ku ssomero lino erisangibwa ku luguudo lw’e Masaka, mu disitulikiti y’e Wakiso ku Ssande nga June 16 (2024).

Ssabaminista Robinah Nabbanja (eyabadde omugenyi omukulu) y’asiimye abaddukanya essomero lino olw’okugunjula abaana abawala nebafuuka baamugaso mu ggwanga, nemunsi yonna, era n’abakulisa emyaka 82 gyebamaze ngabakola omulimo guno.Y’asiimye n’Omwepiskoopi Omuminsane Edward Michaud olw’okwolesebwa kweyafuna n’atandikawo essomero lino mu 1942.

Abaana b'essomero lye Nabbingo nga baaniriza Katikkiro wa Uganda

Abaana b'essomero lye Nabbingo nga baaniriza Katikkiro wa Uganda

Ssabaminista era y’asinzidde kumukolo guno n’akukkulumira ba mmanelenda abawola abantu ssente n’ekigendererwa eky’okubanyagako ebintu byabwe, beyagambye nti bataataaganyizza nnyo enkulaakulana y’eggwanga. Abaagala okwewola ensimbi, okusingira ddala abasomesa, y’abawadde amagezi beeyambise ppulogulaamu za gavumenti, omuli Parish Development Model, Emyooga, n’endala, beetandikirewo pulojekiti ezivaamu ensimbi basobole okwongera kunfuna yaabwe.

Y’akyukidde abayizi abasomera mu ssomero lino n’abasaba beekuume ekirwadde kya mukenenya, kyeyagambye nti kikyaliwo nyo era kikyatta abantu.

 “Temwesembereza wadde okuwudiisibwa bannakigwanyizi ababatonera, obulabo obutaliimu naye ng’ekigendererwa kyabwe kyakubatwala mubikolwa eby’obwenzi. Mulina ebirooto bingi, naye temuyinza kibituukako nga mufuudde. Musome nnyo, mubeere bampisa. Mubeere bantu abekkiririzaamu lwemunatuuka kubyemwagala. Nange gwemulaba nneerwanako bwerwanyi. Olw’okuba nnali mmanyi kyenjagala, nasobola okufuuka omusomesa. Oluvannyuma nnavingira eby’obukulembeze bwa NRM, nempita mumadaala gonna; RDC, mubaka wa paalamenti, Kaminsona wa Paalamenti, minisita omubeezi, ppaka lwennafuuka Ssabaminista wa Uganda era nga nzemukyala asoose. Bwemba nnasobola nammwe musobola.”

Omukulembeze w’essomero lino, Immaculate Lwanga yeebazizza Pulezidenti Museveni ne gavumenti ye olw’okwagala, n’okuwagira ennyo essomero lino.

Katikkiro Nabbanja nga bamulaga ekizimbe ekigenda okuzimbibwa

Katikkiro Nabbanja nga bamulaga ekizimbe ekigenda okuzimbibwa

Akulira abaasomerako mu ssomero lino, Marie Solome Nassiwa Lubowa y’agambye nti bajja kwongera okunoonya ensimbi batuukirize ekigendererwa kyabwe ky’okuzimba Trinity Junior School, gyebaasubiza okuteekawo ng’ekijjukizo ky’essomero lino eky’emyaka 75.

Kumukolo guno gwegumu, Ssabaminista y’atongozza omulimo gw’okuzibira essomero lino Klezia empya, ejja okutuuza abayizi 2,500. Yawaddeyo ensawo za sseminti 1,000. Ssabaminista era y’alagidde abaddukanya essomero lino okujja ambaati aga asbestos kubizimbe byabwe ebikadde kubanga galwaza kkansa, n’abakakasa nti ajja kubawa amabaati gonna amapya, gebanaaba beetaaze.

Omukolo gw’atandse n’ekitambiro kya Mmisa eyakulembeddwa Munsennyooli John Baptist Ssebayigga eyakiikiridde Omubaka wa Paapa, Ssabasumba Augustine Kasujja