Kyagulanyi bamugaanye okwogera ku leediyo e Mbale

Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu agaaniddwa okwogera ku BCU Radio e Mbale.              

Kyagulanyi bamugaanye okwogera ku leediyo e Mbale
By Lawrence Kitatta
Journalists @New Vision

Akulira ebiweerezebwa ku leediyo eno Richard Werike agambye nti aboobuyinza nga bakulembeddwa RDC  Ahmed Wesaki nti Kyagulanyi teyafunye lukusa okwogera ku leediyo eno era bagiyimiriza.  

               388ed604 49ee 430c 9af1 51a4143dba0a

388ed604 49ee 430c 9af1 51a4143dba0a

Ttiimu ya Kyagulanyi ebadde ekulembeddwa Joel Ssenyonyi egezezzaako okwogerezeganya ne RCC wabula enteesaganya tezivuddeemu kalungi era Kyagulanyi n'asalawo okuyita mu kibuga Mbale nga awuubira ku bawagizi be ababadde bakwatiridde ku nguudo ezenjawulo.      

         1a2da16c E213 4164 A235 3276bb8509d9

1a2da16c E213 4164 A235 3276bb8509d9

Wabula Kyagulanyi alaze obwennyamivu olw'okumulemesa okwogera ku leediyo ate nga abadde yasasudde era nga baategeezezza buli akwatibwako era oluvannyuma ayogeddeko eri 'bakodineeta' ba NUP abava mu ttundutundu ly'e Mbale.

A17a8b93 67e9 4799 Abd4 79704fb5cee3

A17a8b93 67e9 4799 Abd4 79704fb5cee3

130a9154 3e5e 4557 Ac68 8b08d56896eb

130a9154 3e5e 4557 Ac68 8b08d56896eb