Bano baalaze essanyu bwe baategezezza ng’abaana baabwe bwe batafiiriddwa mu kiseera kino ng’amasomero tegannaggulwawo.
Omusomesa John Katerega okuva ku Achievers Pride School e Ssenge Wakiso yagambye nti wadde amasomero gaggalwawo naye abayizi basigadde basoma ekibayambye okujjukira bye baali tebannamaliriza.
Ssaava Bibuuzo2
“Abaana Bukedde abayambye nnyo okujjukira bye baali baasoma era nga tubayitiddemu ne bye baali bagenda okuzzaako ku sirabaasi ekibayambe okukuuma obwongo bwabwe nga bukyayokya,” Kateregga bweyayongeddeko.
Ye Diana Nakayenga omuzadde mu Wakiso yasabye Bukedde esigale ng'ewa abayizi ebibuuzo kuba ng’abazadde babadde bafubye okubabeerako ennyo.
Yagambye nti Bukedde amuguze okuviira ddala ku notisi ze yafulumya ng’ebibuuzo bwe byatandika n'agamba nti tayinza kufiiriza baana mukisa ogwo.
Ssaava Bibuuzo1
Yasabye bazadde banne okweggyamu omuze gw’obugayaavu wabula bafube okweyuna Bukedde abayizi basobole okugiffunamu ennyo mu kiseera kino eky'omuggalo.
Samuel Waiswa yagambye nti ebibuuzo bya Bukedde bifaananira ddala ebya UNEB era biyambye abaana baabwe okusigala nga bajjukira ebisomosebwa.
Yasabye abakulu mu Bukedde okwongera ku bungi bw’empapula ezifulumizibwa kuba abazadde bangi balemwa okufuna amawulire olw’okutuuka we bagatundira nga gaweddewo.