Paasita Bugingo avunaanwa emisango esatu
Dec 23, 2021
OMULAMUZI wa kkooti y’eddaala erisooka e Ntebe, Stella Okwong Paculal asomedde Paasita Aloysius Bugingo emisango esatu okuli okugenda mu bufumbo bw'obuwangwa kyokka ng’ akyalina obufumbo bw’ekkanisa.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Godfrey Ssempijja e Ntebe
OMULAMUZI wa kkooti y’eddaala erisooka e Ntebe, Stella Okwong Paculal asomedde Paasita Aloysius Bugingo emisango esatu okuli okugenda mu bufumbo bw'obuwangwa kyokka ng’ akyalina obufumbo bw’ekkanisa.
Ate ye Susan Nantaba Makula n’amuvunaana okugenda mu bufumbo n’omusajja omufumbo kyokka ng’ akimanyi mufumbo ate n’avunaana Bujingo omusango gw’okugenda mu bufumbo obupya ng’ akimanyi nti mukyaalwe akyali mulamu .
Paasita Bugingo N'omugole Makula.
Omulamuzi Stella Okwong Paculal asinzidde wano n’agamba nti waliwo Robert Lutalo eyasooka okuloopa Paasita Bugingo ne Susan Makula oluvannyuma ne Male Mabirizi n’aloopa naye nti emisango gino gyakutambuzibwa wamu era gufuuse musango gumu .
Agenze mu maaso n’agamba nti yasobodde okugenda ku kyalo Bwerenga emikolo gye gyali ne yeebuuza ku bakulembeze abaamukakasa nti Paasita Bugingo yategekayo emikolo gy’obufumbo ekintu ekikyamu .
Agambye nti emisango gino gyonna gyakutandika okuwulirwa era nga Male Mabirizi wamu ne Robert Lutalo balina okukwatira awamu okusobola okuleeta obujulizi obumala era nti omusango guno gwakuddamu okuwulirwa nga Jan 21. 2022 .
Male Mabirizi agambye nti waakukwatagana ne Lutalo basobole okuleeta obujulizi obumala era nga bano bakuleetebwa mu kkooti .
Robert Lutalo agambye nti kino yakikola okulaga nti obufumbo mu ggwanga bukyalimu nnyo amakulu. Paasita Bujingo ne Susan bakiikiriddwa puliida waabwe Ronald Luhinda.
Omusango guno gwaddizibwa nga Dec 6, 2021 ku kyalo Bwerenga mu Katabi Town kkanso mu maka ga Nyombi Thembo .
No Comment