Hajji Kamoga bbulooka w’ettaka bamusimbye mu kkooti lwa byapa
Apr 25, 2025
BBULOOKA w’ettaka Hajji Mohammad Kamoga owa Kamoga Property Master akwatiddwa bawannyondo ba kkooti ku kibaluwa bakuntumye ekyamuyisibwako ne bamukunguzza ekiwejjwejjo mu kkooti gye bamusimbye mu maaso g’Omulamuzi.

NewVision Reporter
@NewVision
BBULOOKA w’ettaka Hajji Mohammad Kamoga owa Kamoga Property Master akwatiddwa bawannyondo ba kkooti ku kibaluwa bakuntumye ekyamuyisibwako ne bamukunguzza ekiwejjwejjo mu kkooti gye bamusimbye mu maaso g’Omulamuzi.
Kamoga aludde nga yeebalama okukwatibwa bawannyondo ba kkooti oluvannyuma lw’okulemera ebyapa by’ettaka erya Andrew Nganda Bugingo kkooti bye yali emulagidde aweeyo.
Bawannyondo ba kkooti nga bakulembeddwa Brian Musinguzi baakutte Kamoga ku Lwokusatu n’asooka aggalirwa mu kaduukulu ku poliisi y’e Kajjansi ng’eno gye yaggyiddwa ku Lwokuna ku makya n’atwalibwa mu kkooti y’omulamuzi Christine Kellen Namutebi, n’akkiriza omusango gw’okulemera ebyapa bya Bugingo ebimubanjibwa.
Bugingo ng’ayambibwako munnamateeka we Anthony Tomusange yategeezezza nga Kamoga bwe yalagirwa okuleeta ebyapa bya Nganda, kyokka yalemwa okukituukiriza nga kati wayise emyaka 5, bw’atyo yasabye kkooti bw’aba yalemeddwa okubireeta mu kkooti bamusindike mu kkomera lwa kunyoomoola biragiro bya kkooti y’omulamuzi Alexandra Nkonge Rugadya owa kkooti y’ebyettaka nga bino byava mu kukkaanya kwe baatuukako wakati wa Kamoga ne Nganda.
Bannamateeka ba Kamoganga bakulembeddwa Moses Kalungi beegayiridde omulamuzi Namutebi obutasindika Kamoga mu kkomera kubanga bwatwalibwaayo talina ngeri gy’anaasobola kuleeta byapa bya Bugingo ebisoba mu 30 nga bya ttaka lya yiika 8.
Omulamuzi Namutebi yabuuzizza Kamoga awali ebyapa bino, yenna ng’atuuyanirirayagambye nga ebyapa bino bwe yabireeta mu kkooti eno n’abikwasa omuwandiisi wa kkooti eno, kyokka bwe yabuuziddwa obukakafu obulaga nti, ebyapa bino yabireeta mu kkooti n’alemwa okubuleeta.
Omulamuzi Namutebi yawummuzizzaamu kkooti okumala eddakiika 10, n’alagira bannamateeka ba Kamoga okuleeta obukakkafu obulaga nti, ebyapa ebyo yabireeta mu kkooti, bwe baakomyeewo nagamba nti, ebyapa bino yabireeta mu kkooti n’abiwa Fredrick Kiwanuka.
Bino byona Tomusange abiwakanyizza nti, Bannamateeka
Andrew Nganda Bugingo awawabira Kamoga.
A
Mohammad Kamoga (wakati ) ng’ava mu kkooti oluvanyuma lw’okusimattuka ekkomera. Kozesa Vision Digital Experience olabe vidiyo.
ba Kamoga bamalira kkooti biseera bo beetaaga Kamoga aleete ebyapa bino oba tabirina atwalibwe mu kkomera.
Ayongedde n’agamba nti, ebyapa bino yabikyusa dda ne bidda mu mannya ge talina ngeri gy’ajja kubireeta.
Kyokka ne Kalungi n’awakanya Tomusange by’ayogedde n’agamba nti, Kamoga muntu wa buvunaanyizibwa atayinza kukole ebyo bamuwe omukisa ajja kuleeta ebyapa ebyo.
Oluvannyuma lwa bannamateeka ba Kamoga naye yennyini okwegayirira ennyo obutatwalibwa mu kkomera, yamuddiddemu n’amuwa ennaku 7 okubeera ng’aleese ebyapa bino era nga alina kukikola nga May, 5, 2025, era wano Kamoga eyabadde mu kanzu enjeru ng’ayambadde Ssapatu yasizza ku kikoowe ng’alaba awonye ekkomera.
Wabula oluvannyuma Nganda yagambye nti, oluvannyuma lw’emyaka 5 basobodde okukwata Kamoga era asuubira mu kkooti ajja kufunayo ku bwenkanya, ebyapa bino bimuddire, naye ye Kamoga ekyapa kye yakikyusa dda era n’abamu ku bantu abali ku ttaka lino yabasengula.
No Comment