Kamoga awonye okuliira Idd mu kkomera ku by'emisango gy'okujingirira ebyapa n'okwezza ettaka

Mar 31, 2025

Bbulooka w’ettaka, Muhammed Kamoga owa Kamoga Property Consultants ayitidde ku lugwanyu ekisiibo okukimaliko mu kkomera!

NewVision Reporter
@NewVision

Bbulooka w’ettaka, Muhammed Kamoga owa Kamoga Property Consultants ayitidde ku lugwanyu ekisiibo okukimaliko mu kkomera!

Ebbaluwa w’omulabira mukwate emuzaalidde leenya, kabangali ya poliisi n’emugoba kumpi kibuga Ntebe kyonna wabula ne yeesimattula ku babadde beesomye okumuliisiza Iddi mu kkomera lwa misango 8 egyekuusa ku kujingirira ebyapa n’okwezza ettaka ly’abantu.

Nganda Bugingo Ng’alaga Ebbaluwa Bakuntumye Kkooti Gye Yamuwa Okukwata Kamoga.

Nganda Bugingo Ng’alaga Ebbaluwa Bakuntumye Kkooti Gye Yamuwa Okukwata Kamoga.

Alhajji Kamoga eyabadde azze mu kkooti e Ntebe ku misango munaana egimuvunaanibwa okuli ogw’okujingirira ebiwandiiko, okyusa ebyapa by’ettaka e Bukaya Ntebbe, okwonoona ebintu by’abantu, okufuna obwannannyini ku ttaka ng’akozesa olukujjukujju n’emirala, muzeeyi Andrew Nganda Bugingo ng’ali ku bbali n’ekibaluwa kye ng’amuswamye naye amweddize.

Kkooti eyabadde ey’okutandika ku ssaawa ssatu ez’oku makya, yatandise kikeerezi nga zikunuukiriza okuwera 6.00 ez’omu ttuntu olw’okuba omulamuzi Stella Maris Amabilis yaluddewo okutuuka.

Mu kiseera nga kkooti tennatandika wakati wa ssaawa nnya ne ttaano, waabaddewo ffirimu gy’osobola okwogerako nti teyabadde nsasulire.

Waasoose kubeerawo keetalo ku kkooti okwabadde abasajja abali mu ngoye za bulijjo abaabadde ng’abalina gwe balondoola kyokka amangu ne kabangali ya poliisi okwabadde abaserikale abawera 10 n’eyingirawo. Kamoga ye yabadde omulindwa oluvannyuma ekyazuuliddwa!

Kamoga (ku ddyo) lwe yasisinkana ssuuna Ben ku by'okutereeza ettaka.

Kamoga (ku ddyo) lwe yasisinkana ssuuna Ben ku by'okutereeza ettaka.

Nga n’enkuba etonnya, yatuuse ku kkooti mu ssuuti eya kiragala n’ebbaasa ya kkaki mu ngalo ne yeesogga kkooti. Eno teyabandaddeyo n’akomawo ne yeesogga mmotoka ekika kya Wish ndowooza eyabadde emulinze.

Mu budde obutono waabaddewo okupapa okwamaanyi nti wuuli wuuyo era obunkenke bweyongedde. Oluvannyuma lw’emmotoka ye okufuluma, abasajja baatandise okugisongamu ennwe kyokka nga yeeyongerayo kapaalo.

Amangu ddala kabangali ya poliisi yamusimbyeko n’abalala ne bakwata zi bodaboda okumugoba okwetoloola ekibuga Ntebe kyokka mpaawo kye baafunye bw’atyo n’abayita mu myagaanya gy’engalo.

Kyategeerekese luvannyuma nti yasoose kulaba muwandiisi wa kkooti newankubadde omulamuzi yabadde tannajja n’amuwa olwa nga May 26, 2025 guddemu olwo ye n’atandika okutema empenda ezimuggyawo.

 

Muzeeyi Nganda yategeezezza nti yasaaliddwa nnyo obutakwata Kamoga kuba yatwala ettaka lye e Bukaaya Ntebe eribalirirwamu obuwumbi 11 nga kati yazimbako n’Omuzigiti kyokka kkooti yamulagira alikomyewo ne yeerema.

Mu kkooti y’e Ntebe, Kamoga avunaanibwa ku ffayiro bbiri, ng’emu kigambibwa nti wakati wa May 7 ne Febraury 8 2021 e Wakiso ku ofiisi z’ebyettaka, Kamoga yakozesa olukujjukujju, n’ajingirira ebiwandiiko ebikyusa obwannannyini ku ttaka erisangibwa mu Busiro Bbulooka 435 Plot 8, ng’agamba nti byali biteereddwaako omukono gwa Peter Bibangamba ekitaali Kituufu.

Abadde waakutandika kuwozesebwa ekitaasobose. Harriet Nabyonga omu ku balondoola n’okuwawaabira Kamoga yategeezezza nti, yamwonoonera ebintu bye byonna kati asula mu weema kyokka kkooti yayisa dda ekiragiro ky’okumuliyirira n’akivvoola ng’ayagala kufuna bwenkanya.

Omulamuzi bwe yazze mu kkooti oluvannyuma, yawooyawooyezza enjuyi zombi n’ategeeza nti abaddeko n’emirimu emitongole era n’akkaatiriza olwa May 26, 2025 lwe guddamu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});