Ebikwata ku mugenzi Rajiv Ruparelia

May 03, 2025

BANNAYUGANDA bakeeredde mu maziga na biwoobe oluvannyuma lw'okufuna amawulira gookufa kwa mutabani w'omugagga Sudhir amanyiddwa nga Rajiv Ruparelia afiiridde mu kabenje mu kiro ekikeesezza leero.

NewVision Reporter
@NewVision

BANNAYUGANDA bakeeredde mu maziga na biwoobe oluvannyuma lw'okufuna amawulira gookufa kwa mutabani w'omugagga Sudhir amanyiddwa nga Rajiv Ruparelia afiiridde mu kabenje mu kiro ekikeesezza leero.

Amawulire gookufa kwa Rajiv gasaasanyiziddwa kitaawe Sudhir Ruparelia ku mikutu gya social media..

Okusinziira ku mumyuka w'omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire, akakasizza nti akabenje kano kaabaddewo  ku ssaawa musanvu ne dakiika 54 ez'ekiro ku luguudo lwa Express Highway.

Rajiv yazaalibwa nga  January. 2, 1990, era yaabaddde omwana omulenzi yekka mu famire ya Sudhir

Yasoma bya nsimbi Financial Management okuva ku Regent’s University London,   Rajiv yakomawo mu Uganda mu 2014 n'atandika okutambuza  business za kitaawe.

Yalondedwa okubeera managing Director mu 2017 era yali wa nkizo nnyo mu kutambuza emirimu egy'enjawulo omuli Speke Apartments, Kingdom Kampalane Kampala Boulevard.

Rajiv abadde anyumirwa nnyo okuvuga emmotoka z'empaka era yaggulawo Rajiv Ruparelia Rally Team  ng'akoze ky'amanyi okutumbula omuzannyo gwa motor sport.

Ng'ayita mu Ruparelia Foundation, Rajiv abadde ayamba bantu mu bintu bingi omuli eby'enjigiriza, eby'emizannyo ssaako n'ebyobulamu

Rajiv abadde atambulira mu Nissan GTR, Registration UAT 638l,eyakubye ekyuma ku kkubo n'eyefuula okumpi ne flyer edda e Busaabala mu District ye Wakiso mu Makindye 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});