Maama wa Buganda Sylvia Nnagginda agabidde ebibiina by'abakyala ssente
May 03, 2025
NNAABAGEREKA Sylivia akuliddemu emikolo gy'olunaku lw'Abakyala mu Buganda n'abakuba akaama, okutumbula emirimu gy'enkulakulana mu maka.

NewVision Reporter
@NewVision
NNAABAGEREKA Sylivia akuliddemu emikolo gy'olunaku lw'Abakyala mu Buganda n'abakuba akaama, okutumbula emirimu gy'enkulakulana mu maka.
Nnaabagereka agamba nti amaka agalimu Omwami n'Omukyala nga benyigidde mu mirimu omuva ensimbi,gakulakulana era n'asaba buli luuyi okuwagiragana.
Ebijaguzo by'olunaku lw'Abakyala mu Buganda by'abadde mu ssaza ly'e Ssingo ng'omukolo omukulu gwabadde ku Beatrice SS esangibwa ku kyalo Kalagi mu ggombolola ye Mulagi mu disitulikiti ye Kyankwanzi ku Lwokusatu April 30,2025.

Maama Nnaabagereka ng'ali ku mikolo
" Njagala okubajjukiza nti Abakyala tuli kyakulabirako kya maanyi,tufeeyo nnyo ki ndaba y'ebintu ennaku zino. Buli kyetukola tulabe bwetukikola obulungi ate nga Kya mutindo," Nnaabagereka bwagambye.
Olunaku lw'Abakyala lwakuziddwa wansi w'Omulamwa ogugamba nti "Twongere okuwagira emirimu gy'abakyala olw'enkulakulana eyanammaddala".
Mu kukola emirimu gyaabwe omuva ensimbi, Nnaabagereka abasabye okubikolera ku mutindo ogwa waggulu.
Oluvanyuma lw'okukola ebintu bino mu ngeri ey'omutindo,Maama wa Buganda abasabye okweyambisa Tekinologiya ate okusitula omutindo gwaabyo n'okubifunira akatale.
" Mu kwongera omutindo ku bintu byaffe,tusobola bulungi okweyambisa Tekinologiya,okusitula omutindo gweebyo byetukola. Anti Kati bangi tulina amassimu. Bangi Kati basobola okufuna obutale nga tuyita ku Ssimu,okusoma emisomo egy'enjawulo ku ssimu," Nnaabagereka bwakunze Abakyala.

Amakula agfaweereddwa maama Nnaabagereka
Nagginda alabudde abakyala ku nkozesa enkyamu ey'amassimu kubanga bangi gabaletedde okusulirira obuvunanyizibwa bw'okugunjula abaana.
Kyokka abo abatalina Ssimu ziri ku mutindo ezibasobozesa okuyungagana ku mutimbagano,okukyusa bafune ezo ezitabasubye birungi ebiva mu Tekinologiya.
Ebibiina bibiri okuli Pauline Juliet Women Empowerment Association ekisangibwa mu tawuni ye Kiboga,ne Mutima Poultry Farm esangibwa ku kyalo Kabutemba mu ggombolola ye Kapeke e Kiboga nga ya Ssaalongo Kato Luzze ne Nnaalongo Joan Nnabagesera,biwereddwa obukadde 10 buli kimu.
Nnaabagereka agambye nti ensimbi ezigenda mu Kibiina ki Pauline Juliet zigenda kuva mu Nnaabagereka Nagginda Women's Fund ate eza Mutima Poultry Farm zigenda kuva mu Nnaabagereka Development Fund.
Minisita w'ekikula ky'abantu mu Buganda,Hajjat Mariam Mayanja agambye Obwakabaka bwakwongera okuwagira emirimu gy'abakyala ate era neyeebaza abo abeetabye mu mwoleso gw'ebintu ebikolebwa Abakyala nga bino Nnaabagereka nabyo yabirambudde.

Maama Naabagereka ng'awuubira ku bantu
Mu kwebaza Abakyala,Nnaabagereka okuyita mu Nnaabagereka Nagginda Fund yawadde Abakyala ba Pauline Juliet obukadde 10 okutumbula emirimu gyaabwe ate okuyita mu Nnaabagereka Development Foundation naawa Mutima Poultry,10,000,000/-
Mukwenda Deo Kagimu,akulembera essaza ly'e Ssingo yeeyamye nga bwebagenda okwongera amaanyi mu mirimu gy'abakyala kuba kyakukuza amaka.
Ate ye Nasseremba yeebazizza Nnaabagereka olw'okuggulawo ekizimbe mu kifo kino ekiyitibwa Annina Haevey omusomerwa.
Omukolo gwetabiddwako Minisita w'ebyobulimi mu Buganda Hajj Amisi Kakomo,Omukulu w'ekika ky'Omutima Namugera Kakeeto Nicholas Kasekende, Dr. Sarah Nakatudde Nkonge Muwonge ku lwa Nnaabagereka Nagginda Women Fund n'abakungu abalala.
Related Articles
No Comment