URA esanyizzaawo eby'amaguzi bya buwumbi busatu

May 03, 2025

Ekitongole ky'omusolo mu ggwanga ekya URA kisaanyizzaawo eby'amaguzi ebibalirirwamu obuwumbi bwa ssente  busatu Byonna byabadde byakolebwa mu ggwanga omuli  ebika by'omwenge eby'enjawulo ,amazzi ssaako ne sementi ng'ebisinga tebirina sitampu za musolo ssaako n'ebyo ebicupule.

NewVision Reporter
@NewVision
Ekitongole ky'omusolo mu ggwanga ekya URA kisaanyizzaawo eby'amaguzi ebibalirirwamu obuwumbi bwa ssente  busatu
 
Byonna byabadde byakolebwa mu ggwanga omuli  ebika by'omwenge eby'enjawulo ,amazzi ssaako ne sementi ng'ebisinga tebirina sitampu za musolo ssaako n'ebyo ebicupule.
 
Stephen Mugema okuva mu kitongole kya"omusolo ogukunganyizibwa munda ku ggwanga (Domestic tax department ) eyakuliddemu okusaanyaawo eby'amaguzi bino mu kifo  ky'amakokero g'eggye lya UPDF aga  Luweero Industries e Nakasongola ku Lwokusatu yagambye kino kikoleddwa okutaasa obulamu bw'abantu abakozesa ebintu bino ssaako naabo abatunda ebintu byebimu naye nga bawa onusolo.
 
"Omutindo gw'ebintu ebitalina sitampu ya musolo guba tegumanyiddwa .Abalala byabadde beeyambisa sitampu ezebicupuli, Mugema bweyagambye.
Ebintu bino ebyabadde ebisukka mu  100 byasaabaziddwa kkampuni ya Rugarwana Industries eyapatanibwa URA okukola omulimu guno wakati mu bukuumi obwamaanyi.
Ebimu ku bintu URA byesanyizzaawo

Ebimu ku bintu URA byesanyizzaawo

 
Mu byasaanyiziddwaawo mwabaddemu ebika by'omwenge eby'enjawulo mu bika  ebisukka 60 nga birina amannya ag'enjawulo omuli Pipo Power ,Air Force Gin, Chairman Gin, Sentamu Gin, Kasasa  Gin, Daw Gin , amazzi agali mu bicupa  ebinene, n'ebiralala.
 
Ebimu byabadde byalina kuba nga bitwalibwa mu mawanga ag'ebweru wabula nebyesanga nga tebituuseeyo nga bizziddwa ku katale.
Sementi yali yaggyubwa mu mwanga ag'omuliraano wabula n'ateekebwako sitampu eraga nti waawano mu ggwanga.
 
Mugema yasambye abasuubuzi bafube okulaba nga bavaayo bakole bizinensi baabwe mu bwerufu okwewala okufiirizibwa  kuba balina obusobozi okumanya ensibuko yabuli kyamaguzi ekiri ku katale.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});