Amawulire

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’Abataka Augustine Kizito Mutumba asabye ab'ebika okukulaakulnay obutaka bwabwe

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’Abataka Augustine Kizito Mutumba asabye ebika okuteeka essira ku kukulakulanya obutaka bwaabyo nga kyakuyamba okubizaamu amaanyi.Yabyogeredde ku mukolo okwayanjuliddwa amasiro ga Ssekabaka Winyi Chwa Male e Kibulala agayoyooteddwa nga wano wewali obutaka bw’Ababiito b’e Kibulala mu Ssingo gyebuvuddeko.“Mwebale okulongoosa amasiro. Kino kikulu mu kuzimba n’okunyweza ennono yaffe. Kano kabonero akalaze nti bwetukolera awamu tusobola okwekolera ku bintu byaffe nga tetulinze balalakujja kutuyamba,” Namwama Mutumba bweyategezezza.

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’Abataka Augustine Kizito Mutumba asabye ab'ebika okukulaakulnay obutaka bwabwe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’Abataka Augustine Kizito Mutumba asabye ebika okuteeka essira ku kukulakulanya obutaka bwaabyo nga kyakuyamba okubizaamu amaanyi.

Yabyogeredde ku mukolo okwayanjuliddwa amasiro ga Ssekabaka Winyi Chwa Male e Kibulala agayoyooteddwa nga wano wewali obutaka bw’Ababiito b’e Kibulala mu Ssingo gyebuvuddeko.

“Mwebale okulongoosa amasiro. Kino kikulu mu kuzimba n’okunyweza ennono yaffe. Kano kabonero akalaze nti bwetukolera awamu tusobola okwekolera ku bintu byaffe nga tetulinze balalakujja kutuyamba,” Namwama Mutumba bweyategezezza.

Bik 2

Bik 2

Omutaka Namwama yayongedde n’ategeeza nti buli kika kirina okubeera n’enteekateeka ey’enkulakulana bwatyo n’asomooza n’Abalangira abalala abava mu Bassekabaka okukulakulanya embiri zaabwe nga mu kukola kino,abantu ba Buganda bagenda kubeera batandise okwekolera FEDERO eyaago.

Ye Ssababiito we Kibulala, Samuel Walugembe yebazizza bazzukkulu be bano olw’okwekolamu omulimu ogwasuse ensimbi obukadde 50 okuddabiriza amasiro g’e Kibulala n’abasaba n’okugenda nga bakuuma ennono ate n’okukulakulanya ebifo byonna byebalina.Nem 1

Nem 1

Omukolo gwetabiddwako Nnalinya w’amasiro gano Dina Kigga, Nnalinya Beatrice Namikka,Omulangira Gommotoka eyakikkiridde Ssabalangira wa Buganda,abakulu b’ebika mu Buganda okuli Omutaka Nsamba Aloysius Magandaazi,Omwami w’essaza ly’e Ssingo David Nantajja.

Bik 7

Bik 7

Katikkiro wa Ssababiito e Kibulala, Asadu Bamweyana yategezezza ng’obumu bwebubayambye okumaliriza omulimu gw’okuzimbaenju enkulu mu masiro gano n’asaba bazzukkulu banne beyongere okukolera awamu buli lwebabategeeza ku nsonga z’okwekolamu omulimu gw’okwekulakulanya.

Bik 9

Bik 9

Akulira eby’obuwangwa e Kibulala, Edirisa Luwangula yategezezza nga bwebalina ebifo bingi ebyetaaga okulabirira n’okukulakulanya nga Jinja Mawuuno e Kawempe n’ekirala ekiri e Mutundwe mu Kyadondo n’ebirala kubanga bwebatakole kino waliwo bangi abeesomye okubitwala.