Abaagenze e Mutukula okukuba ebivvulu babakutte

ABAYIMBI abaagenze e Mutukula okukuba ebivvulu bya Ssekukkulu babakwatidde ku nsalo nga bakomawo.Mu baakwatiddwa mulimu; Eddy Kenzo, Serena Bata ne pulomoota waabwe, Abbey Musinguzi eyakazibwako erya Abtex.Abeemuludde ne bayita ku baserikale nga tebabalabye kuliko Mathias Walukagga ne Mikie Wine.

Abaagenze e Mutukula okukuba ebivvulu babakutte
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAYIMBI abaagenze e Mutukula okukuba ebivvulu bya Ssekukkulu babakwatidde ku nsalo nga bakomawo.
Mu baakwatiddwa mulimu; Eddy Kenzo, Serena Bata ne pulomoota waabwe, Abbey Musinguzi eyakazibwako erya Abtex.
Abeemuludde ne bayita ku baserikale nga tebabalabye kuliko Mathias Walukagga ne Mikie Wine.
Abalala okuli; Nina Roz, Roden Y Kabako ne Topic Kasente eyayimba Tonzoleya nabo beemuludde.
Abalala abeemuludde kuliko; Sophie Nantongo, Liam Voice, Chris Evans, Kid Dee, Ray G.
Bano baategese ekivvulu kye baatuumye ‘Ebisenge bikalubye’ ku bbaala emanyiddwa nga Happiness Motel e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania.
Ng’amateeka ga COVID-19 agaaleetawo omuggalo bwe galagira, ababadde emitala w’amayanja bonna balina okusooka okukeberwa obulwadde nga tebannayingira, abayimbi bonna baabadde balina okukeberwa kyokka ng’abamu bakitya oba okukiwakanya.
Ekifo ekyo Bannayuganda bazze bakubirayo ebivvulu okuva omuggalo lwe gwatandika mu Uganda mu March wa 2020.
Kiri mu Tanzania kyokka nga kiriraanye nnyo ensalo ya Uganda. Olw’okuba amateeka e Tanzania gakkiriza ebivvulu ekitali ku Uganda, abayimbi baakutudde ddiiru ne Abtex eyabasasudde ne bagenda e Tanzania ne bayimba.
Ebivvulu we bikubirwa kumpi ddala ne Uganda, okasuka n’ejjinja ng’oli mu Uganda ne lituukayo. Kyokka akatundu ako engeri gye kali Tanzania, ebibeerayo ab’e Uganda tebibakwatako okuggyako okugamba nti ekiyita waggulu otega wansi kubanga n’abayimbi abaagenze ne bayimbirayo, baabakutte madda.
Abtex agamba nti omuggalo gwe bamazeemu emyaka ebiri gwababuza ssente ne basigalira kusala magezi era nga bwe yakkaanya n’abayimbi abo kwe kwesogga eggwanga eryo ne bakuba ebivvulu.
Ebisenge bikalubye, luyimba lwa Serena lwe yayimba ne Chris Evans nga Serena akaaba obufumbo bwe yalimu ate nga Chris amugumya abusigalemu.
Abtex agamba nti baakubye ekivvulu ku Boxing day ne kikwatayo wabula baabadde bakomawo ‘n’akaabwe’ ne babasalako ng’enjogera bw’eri.
Kabako nga y’omu ku beemuludde, yagambye nti, ‘Amagye tebagakwata, nakutte Nina ne Topic Kasente ne mbakweka ne mbayisaawo. Ebirala ndibibategeeza bwe twayiseewo bwe tuliba tufunye obudde. Nabadde ne Mikie Wine era twafulumye bulungi Tanzania okutuusa lwe gyawunye. Oyo naye namusanze mu maaso nga yasaze dda kubanga yeebeereddemu.’ Kabako bwe yategeezezza.
Mikie Wine yagambye nti, e Tanzania baggyeeko ebyuma ng’ayimba (tamanyi oba byafudde bufi) olwo we yamanyidde nti ebintu bikalubye era yayimbyeyimbye ‘akapera’ mangu ‘n’ayitamu’.
Yategeezezza Bukedde nti yeekengedde nti ayinza okuyoolebwa ng’akomawo era bwe yavudde ku siteegi yabuzeewo bubuzi nga tayise ku nsalo nga bwe kyandibadde.
Kigambibwa nti abaabadde batya okukeberebwa baalinnye bodaboda ezaabayisizza mu masoso ne beewala abaserikale.
“Nze nnina omusawo wange awaka era gye natuukidde n’ankebera nabadde saagala kunkeberera wali.” Mikie Wine bwe yategeezezza.
Abtex yategeezezza nti abaabadde balina kkaadi ezikakasa nti bageme, baabadde tebaddamu kubakebera era baabalese. Kenzo, Ray G, Serena n’omuyambi we akola ‘makeup’ baabakebedde ne babata.
Abtex yategeezezza nti ye yasembye okuva e Tanzania ng’akakasizza nti abantu be yagenze nabo bonna bali bulungi.