Amawulire

Aba ffamire z’abaana abaafudde mu muliro balojja

ABA ffamire z’abaana abaafiiridde mu muliro ogwakutte essomero e Kawempe balojja ennaku gye balimu ey’okufiirwa abaana baabwe mu ntiisa!Mansur Ssentongo amyuka ssentebe w’akatale ka Nakasero, eyafiiriddwa muwala we, Husina Babirye Nakawuki Ssentongo yagambye nti; Ku ssomero lino mbaddeyo n’abaana 3, abalongo ne mukulu waabwe ali mu P7.

Aba ffamire z’abaana abaafudde mu muliro balojja
By: Paul Galiwango, Journalist @New Vision

ABA ffamire z’abaana abaafiiridde mu muliro ogwakutte essomero e Kawempe balojja ennaku gye balimu ey’okufiirwa abaana baabwe mu ntiisa!
Mansur Ssentongo amyuka ssentebe w’akatale ka Nakasero, eyafiiriddwa muwala we, Husina Babirye Nakawuki Ssentongo yagambye nti; Ku ssomero lino mbaddeyo n’abaana 3, abalongo ne mukulu waabwe ali mu P7. Nabatwalayo ku Ssande, wabula ku Lwomukaaga ku ssaawa 1:00 ez’oku makya, dayirekita n’ankubira essimu ng’antegeeza nti omuliro gukutte ekisulo ky’abayizi era abaana abamu bafudde.

Okutuukayo nga muwala wange y’omu ku baafiiriddemu. Yagasseeko nti; Ekyannyambye obutafiirwa baana babiri, omu abadde asula mu kisulo kirala. Babirye abadde alina emyaka 13 ng’abadde asoma mu P3. Yaziikiddwa ku Lwomukaaga e Kasawo.
YAFUDDE KIZIYIRO
Diriisa Kasiriivu eyasangidwa ku ggwanika e Mulago yategeezeza nti; ‘Nze mbadde omukuza wa Bashira Nabaweesi kuba kitaawe yafa emyezi 6 egiyise. Nnyina, Hadijah Nabasirye mwannyinaze.
Abadde wa myaka 9 ng’abadde yaakatandika okusoma P2. Abadde mwana mulungi nnyo. Nnyina alina kawooteeri awaka w’atundira emmere ne caayi e Katwe we tubeera era Bashira y’abadde amuweereza kubanga abaana be abakulu baavaawo
awaka.
Twamututte ku ssomero ku Lwokusatu era ekyasinze okutwewuunyisa bwe twabadde tumuzzaayo kwe kugamba nnyina nti, “Onzizizzaayo mu kisulo sigenda kuddamu kukulaba ppaka ppaka!”
Kasiriivu yagasseeko nti, Bashira teyabaddeko kiwundu kyonnayafudde kiziyiro. Yaziikiddwa ku Lwomukaaga e Naama Mityana.
BANZITIDDE OMWANA
Stellah Ssendawula maama wa- Juliana Nakalanzi eyasangiddwa mu maka ge ne bba, Peter Ssozi Ssendawula e Kawempe- Kirokole yategeezeza nti, Nakalanzi 6 abadde asoma P1.
“ Ku Lwokutaano nagenda ku ssomero nga mutwalidde ebyokulya n’ebyokunywa ne ndaba metulooni, ne mukuutira okumulabirira kubanga akyali muto.
Yandaze w’asula ng’ali kumpi ne metulooni w’asula n’ahhamba nti wadde omwana wange muto naye wa buvunaanyizibwa kubanga n’akasumuluzo ka kkeesi ye
akeekuumira. Okutegeera nti omwana wange
afudde, muliraanwa ye yankubiddeessimu ku ssaawa 1:00 ku makya n’antegeeza nti ekisulo ky’essomero kiyidde. Nakubidde dayirekita eyantegeezezza nti omwana wange afudde

Tags: