Minisita omubeezi mu ofiisi y’omumyuka wa pulezidenti Diana Mutasingwa (mukyala Buikwe) akukkulumidde abakulembeze b’ebitundu abakotoggera bannansi okwetaba mu pulojekiti eziba zibaleeteddwa ku kitundu kyabwe .
Okwogera bino Mutasingwa abadde ku matikkira g’abayizi abaazaalako nga tebanaweza myaka 18 ku kyalo Kasubi mu disitulikiti y’eBuikwe gy’abadde omugenyi omukulu .
Abayizi batikkiddwa mu misomo omuli okusiba enviiri , okutunga ekyalaani , okukuba meekaapu n’ebirala .
Akulira enteekateeka mu kibiina kya World Vision Edward Khaukha agambye nti ekitongole kino kiweza emyaka 40 mu 2030 era essira balissa ku kuyambako ku baana abafunidde embuto mu masomero ne bazaala baana bannaabwe.
Asabye abakulembeze b’ebitundu okuyamba abaana bano okufuna ku ssente za PDM zibayambeko oluvannyuma lw’okufuna obukugu n’entandikwa entono etali ya ssente ate nga nazo bazeetaaga okwongereza ku bikalu bye babawa.
Yayongeddeko nti pulojekiti eno eyambye abaana 1000 era asinzidde wano n’asaba abazadde okukomya okugoba abaana ewaka nga bafunye embuto nga bato.
Abaana 25 ku buli 100 mu ggwanga bafuna embuto nga nga bali wansi w’emyaka 18 , kyokka ate mu Buikwe 40 ku buli 100 be bazifuna era Mutasingwa asinzidde wano n’asaba abazadde okuba abasaale okunogera ekizibu kino eddagala olwo ne gavumenti nga bw’eyongerezaako wamu n’ebibiina by’obwannakyewa.