Supreme Kaazi wa Kampala akubirizza abantu okunoonya okumanya
Jan 18, 2022
SUPREME Kaazi wa Kampala Sheikh Idris Luswabi asabye abantu okujjumbira okunoonya okumanya kubanga kimu ku bijja okutwala eggwanga mu maasoAtegezezza nti okunoonya okumanya kukwata ku buli muntu era nga kino kibeera kirabo kyebalina okukwata obulungi kubanga ekyo Katonda ky’ayagala.Sheikh Luswabi era ategeezezza nga abantu abamu bwebatanoonya kumanya kumala nga kati bamala googera byebatamanyi naddala ku nsonga z’eddiini.

NewVision Reporter
@NewVision
SUPREME Kaazi wa Kampala Sheikh Idris Luswabi asabye abantu okujjumbira okunoonya okumanya kubanga kimu ku bijja okutwala eggwanga mu maaso
Ategezezza nti okunoonya okumanya kukwata ku buli muntu era nga kino kibeera kirabo kyebalina okukwata obulungi kubanga ekyo Katonda ky’ayagala.
Sheikh Luswabi era ategeezezza nga abantu abamu bwebatanoonya kumanya kumala nga kati bamala googera byebatamanyi naddala ku nsonga z’eddiini.
Ategezezza nti abantu abamu bataputa bubi ebigambo bya Katonda olw’ebigendererwa byabwe ebirala ky’agamba nti kino kiviirako n’okusobya ennono z’eddiini.
Agambye nti abantu basaana batapute bulungi ebigambo bya Katonda kijjewo ekuwaba mu kigambo kya Katonda.
Asabye abantu okubeera abetowaze mu buli kyebakola kubanga kibayambako okwewala okukola ensobi mu byebakola byonna.
No Comment