Supreme Kaazi wa Kampala akubirizza abantu okunoonya okumanya

Jan 18, 2022

SUPREME  Kaazi  wa Kampala Sheikh  Idris Luswabi  asabye  abantu okujjumbira okunoonya okumanya kubanga kimu ku bijja okutwala eggwanga mu maasoAtegezezza  nti okunoonya okumanya kukwata ku buli muntu era nga kino kibeera kirabo kyebalina okukwata obulungi kubanga ekyo Katonda ky’ayagala.Sheikh Luswabi era ategeezezza nga abantu abamu bwebatanoonya kumanya kumala nga kati bamala googera byebatamanyi naddala ku nsonga z’eddiini.

NewVision Reporter
@NewVision

SUPREME  Kaazi  wa Kampala Sheikh  Idris Luswabi  asabye  abantu okujjumbira okunoonya okumanya kubanga kimu ku bijja okutwala eggwanga mu maaso

Ategezezza  nti okunoonya okumanya kukwata ku buli muntu era nga kino kibeera kirabo kyebalina okukwata obulungi kubanga ekyo Katonda ky’ayagala.

Sheikh Luswabi era ategeezezza nga abantu abamu bwebatanoonya kumanya kumala nga kati bamala googera byebatamanyi naddala ku nsonga z’eddiini.

Ategezezza nti   abantu abamu bataputa bubi ebigambo bya Katonda olw’ebigendererwa byabwe ebirala ky’agamba nti kino kiviirako n’okusobya  ennono z’eddiini.

Agambye nti  abantu basaana batapute bulungi ebigambo bya Katonda kijjewo ekuwaba mu kigambo kya Katonda.

Asabye abantu  okubeera abetowaze mu buli kyebakola kubanga kibayambako okwewala okukola ensobi mu byebakola byonna.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});