Abakulembeze b’Obusiraamu mututaase ku batutulugunya

Mar 29, 2022

KANSALA wa L.C V mu Nakawa III Faisal Ssebayigga Kibirige awanjagidde abakulembeze b’Obusiraamu aba waggulu okubataasa ku bakulembeze bannaabwe b’alumiriza nti basusizza okubatulugunya naddala mu Kampala newankubadde nga n’abamu balina enzikiriza yeemu.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Huzaima Kaweesa

KANSALA wa L.C V mu Nakawa III Faisal Ssebayigga Kibirige awanjagidde abakulembeze b’Obusiraamu aba waggulu okubataasa ku bakulembeze bannaabwe b’alumiriza nti basusizza okubatulugunya naddala mu Kampala newankubadde nga n’abamu balina enzikiriza yeemu.

Ssebayigga ategeezezza nti  kyannaku okuba ng’Abasiraamu abawerako baalondebwa mu bifo eby’obukulembeze eby’enjawulo nga muno mulimu ba RDC, baminisita, ababaka ba palamenti , bameeya n’abakulembeze ku mitendera emirala kyokka basirika busirisi ng’ebikolwa by’okutulugunya abantu bigenda mu maaso.

Ategeezezza nti bo ng’ abakulembeze abaalondebwa abantu bali mu kusoberwa olw’abakulembeze ababasiibya mu makomera b’agamba nti bazingamya emirimu.

Ssebayigga ategeezezza nti abakulembeze b’eddiini ensonga zino zibakwatako butereevu nga kibakakatako okugamba ku bakulembeze bannaabwe.

Agasseeko nti ebizibu ebiruma Bannakampala bingi nnyo nga balina okubikolako okusinga okudda mu kwerumaaluma.

Asabye abakulembeze okukwataganira awamu mu bukulembeze kiyambeko okutwala eggwanga mu maaso.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});