Babinuka masejjere
Apr 21, 2025
NNANKULU wa KCCA, Hajjat Sharifah Buzeki asabye abazadde okukomya okufaku baana abawala bokka ne beerabira nti n’abalenzi beetaaga okufiibwaako ennyo.

NewVision Reporter
@NewVision
NNANKULU wa KCCA, Hajjat Sharifah Buzeki asabye abazadde okukomya okufa
ku baana abawala bokka ne beerabira nti n’abalenzi beetaaga okufiibwaako ennyo.
Ye yabadde omugenyi omukulu ku University y’Obusiraamu eya IUIU e Kabojja mu mpaka z’okwolesa ebitone ng’abayizi abasiraamu abeegattira mu kibiina kya Inter Muslim Students Association of Kampala (IMSAK). Amasomero 48 basindanye mu
bitone eby’enjawulo okwabadde Quiz, okusoma Quran, Science and technology
okusoma amawulire, Islamic Entertainment, Poem Presentation, okwogera mu bantu (public speaking),
omupiira n’ebirala. Madiinah Islamic e Nsanji Katereke ye lyawangudde ne liddirirwa Kibuli SS ne Bilal Islamic School Bwaise.
No Comment