Museveni alabudde abatiisatiisa abalala
May 10, 2025
PULEZIDENTI Museveni era omuduumizi w’oku ntikko ow’eggye lya UPDF avumiridde ebibiina by’obufuzi ebyenyigidde mu nkola y’okutiisatiisa bannansi n’alagira kikome bunnambiro.

NewVision Reporter
@NewVision
PULEZIDENTI Museveni era omuduumizi w’oku ntikko ow’eggye lya UPDF avumiridde ebibiina by’obufuzi ebyenyigidde mu nkola y’okutiisatiisa bannansi n’alagira kikome bunnambiro.
Bino Museveni yabyogeredde mu lukiiko lw’ebyokwerinda olw’oku ntikko olwa UPDF olwa Defence Forces Council olwatudde mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe.
Pulezidenti yagambye nti, ensonga y’okutiisatiisa bannansi olw’endowooza zaabwe
ez’ebyobufuzi ebitongole by’okwerinda byagiteesezzaako era ne basalawo ekomezebwe
bunnambiro. Yalaze nti, buli muntu yeetaaga munne kuba tewali asobola kwemalirira mu
byonna ng’omuntu okuwangula emitima gyabantu olina kubaperereza ng’oyogera nabo bulungi.
“Bwogenda e Acholi osanga abantu bonna nga balima entungo era tebeegulaako kuba bonna balina ebintu bye bimu. Kino bwe kiri ne mu Ankole gye balina amata, ennyama n’amatooke.
Okufuna akatale k’ebintu balina kuguza balala abatabirina,” Museveni bwe yakubirizza.
Kuno kwe balina n’okunoonyeza akatale ebweru w’eggwanga kuba Uganda teyeemalirira. Okugeza Uganda erima ttani z’ebikajjo emitwalo 70, kyokka ng’esobola
kukozesaako ttani emitwalo 30 zokka. Ttani ezisigadde 40 zirina kutundibwa mu mawanga malala.
Abakulira UPDF yabasabye okufaayo ennyo ku mbeera z’abaserikale nga bongereza ku
buwanguzi obuzze butuukibwako ng’okuzimba amasomero omusomera abaana b’abajaasi gattako SACCO yaabwe ebayambye ennyoKu nsonga y’okutumbula ebyenfuna by’abajaasi, Pulezidenti yabawabudde batandike okulima n’okulunda mu ngeri y’ekibalo.
Kuba tekigasa muntu alina ettaka ettono nga yiika bbiri ate okulimirako taaba oba ppamba eyeetaaga okulimira awagazi ennyo okumufunamu.
Ku bantu abalina yiika ennya, yabawabudde okukozesa ekibalo ky’azze abawa yiika emu balimireko emmwaanyi mw’asobola okufuna obukadde 15 omwaka.
Yiika eyookubiri esobola okubeerako ebibala, eyookusatu n’ebeerako omuddo ogusobola okuliisa ente z’amaka 8 ate eyookuna ne kubeerako emmere
eriisa amire.
Emmanju w’ennyumba osobola okulundirayo enkoko oba embizzi eddiini bw’eba tekukugira. Omuntu ali okumpi n’olutobazzi asobola okusima ebidiba by’ebyennyanja n’ofunamu obukadde obuwera 80 omwaka. Olukiiko lwetabyemu omuduumizi wa UPDF, Gen. Muhoozi Kainerugaba, minisita w’ebyokwerinda, Jacob Oboth-
Oboth, minisita omubeezi ow’ebyokwerinda, Huda Abason Oleru, omuwandiisi ow’enkalakkalira, Rosette Byengoma n’abalala.
MUHOOZI ALABUDDE KU BUMENYI BW’AMATEEKA MU KAMPALA
Gen. Muhoozi Kainerugaba, yatenderezza emirembe egiri mu Uganda n’agamba nti, obuzibu bubadde bukyasigalidde Karamoja naye mu kiseera kino balinamu akalembereza era bakola ekisoboka okulaba nga tebaddamu kufuna mmundu.
Kyokka mu kiseera kino obumenyi bw’amateeka bukyasigalidde mu bitundu bya Kampala n’emiriraano.
“Obumenyi bw’amateeka mu kibuga tubukwasizza maanyi, era tewali ajja kukkirizibwa kutabangula mirembe gya Bannayuganda. Tulondoola bonna abaagala okuleetawo obutabanguko, amateeka gasobole okubakolako.
Njagala kitegeerekeke nti, Kampala ky’ekibuga ekikulu ekya Uganda era buli Munnayuganda alina okuwuliriramu emirembe mu kibuga kyabwe,” Muhoozi
bwe yalabudde.
Ekiseera ky’okulonda kye tugendamu, yagambye nti, bakyetegekedde bulungi si kulwa
ng’eggwanga lirumbibwa nga tebakyetegekedde. Muhoozi yayogedde ne ku buwanguzi obutuukiddwako nga mu myaka ena egiyise basobodde okutumbula embeera y’abaserikale, okubazimbira ennyumba mwe basula, okutereeza ebyendya, ebyobulamu, entambula n’ebintu ebirala.
Mu ngeri ey’enjawulo yasiimye Pulezidenti Museveni olw’obukulembeze obulungi n’obuwagizi bw’azze abawa. Yakoonye ne ku nkolagana ennungi gye balina n’amawanga agatuliraanye era nga UPDF yatwala amagye e Congo ne South Sudan
okutebenkeza emirembe era bakoze omulimu gwa ttendo
No Comment