Ki kyekitegeeza Kristo okubeera essuubi lyaffe mu bulamu

May 10, 2025

ENNAKU zino 40 Yesu yazimala nga yeeraga eri abantu abenjawulo. Yesu oyo nakati akyatweraga mu ngeri ezenjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision

ENNAKU zino 40 Yesu yazimala nga yeeraga eri abantu abenjawulo. Yesu oyo nakati akyatweraga mu ngeri ezenjawulo.
Okubeerawo kwa Kristo mu bulamu bwo, yensibiko ye ssuubi n’ekitiibwa ekiraga essuubi lye tulina mu Yesu ono eyazuukira era omulamu muffe.
Essuubi lino erya Kristo akolera mu gwe lisimba emirandira ku Yesu ono nerireeta obulamu obukyuse, obukuze ate obutambula.
Kitegeezaki Kristo okuba essuubi lyaffe?
1Ekyama kibikuddwa:
Paulo atulaga nti ekyama kino bwekibikulwa gyoli otegeera embala yo mu Kristo. Obulamu bwo butuukiriza ekigendererwa kya Katonda kyalina eky’obulamu bwo. Obeera ekitonde ekigya ebyedda nga biweddewo. Abayigirizwa balwawo nga ekyama ekyokuzuukira kwa Kristo tekinababikulirwa. Yokaana 21:1. Yesu nga asisinkanye abayigirizwa be ku nnyanja nga bateganye ekiro kyonna nga tebalina kyebafunye yabagamba bugambi nti musuule obutimba bwamwe olwo ne baakwasa ebyenyanja bingi.
Ekyama kino buli lw’okibikulirwa ebitasoboka bisoboka, ebizitowa biwewuka, era nebitiisa bigwaawo.
2. Okubeerawo kwa Kristo era n’okukyusibwa:
Essuubi lino likyusa ebintu bingi, mujjukira omusajja Yesu gweyazibula amaaso Yok.9:1; naye Yok. 9:25 Kristo mulamu era akolera mu bulamu bwabakkiriza.
Omwaka guno e Namirembe tutunulira omulamu nti Katonda taasulenga muntueyatuukirira ...(Yob.8:20).
Obulamu obutegedde okuzuukira bunyweza era butegeera okukkiriza, bubeerawo lwabigendererwa bya Katonda so si bibyo, bulaga okwagala kwa Katonda, buwangula ekibi.
3. Essuubi eryebyo mu maaso.
Kristo mu gwe essuubi eryekitiibwa, essuubi lino linyweza nti si kulowooza bulowooza naye bwe bugumu bwetulina era n’okulindirira obukakafu bwebisuubizo bya Katonda.
Okumanya nti essuubi lino lituwanguza okufa era lireeta essuubi erye Ggulu epya nensi empya.
Essuubi lino lituyamba okumanya ebintu omutali bulamu, okumanya ebisusunku n’ebirerya.
Paulo atujjukiza; 1 Kol.15:33 “fenna twava mu Adamu nti naye mu Kristo fenna mwetuberera abalamu.”
4. Essuubi lino lyalubeerera;
Essuubi lituwaliriza okuyayaana okutabagana n’abalala,lituleetera okwagala n’okumanya obukulu bw’okubeera n’ebibiina by’abantu nga nabo abalina essuubi lino.
Yesu yakakasa abayigirizwa be. (Yok. 14:20)“Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, nammwe mu nze, nange mu mwe. Ggwe oli mu Kristo, naye mu gwe? Ebyo obiwulira? Mu kisa kye ekingi atuwa okuzalibwa okugya ne suubi epya okuyita mu kuzuukira kwa Yesu Kristo.
5. Embala ya Kristo mu gwe:
Essuubi lino litujjukiza nti okubeera ne Kristo ye nsibuko ye ssanyu, okukakasibwa era namanyi nebwoba oyita mu mbeera ezisoomooza. Jjukira Yobu nti mwebyo byonna teyava ku Katonda. Abakkiriza babeera bawanguzi nokukirawo.
Esuubi lino lituwa amaanyi okulwana nensi n’omubiri ne Setaani. Esuubi lino litujjukiza nti Yesu yajja okutuwa amaanyi agalwanyisa ate nokuwangula byonna ebirabika nga ebitasoboka.
Essuubi lino bwowaayo omutima gwo eri Yesu otandika okutegeera emirimu egy’ekizikiza nogyawula ku gy’omusana.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});