Emigaso gy’ebitundu by’eggi n’obuzibu bwe litangira

May 10, 2025

AMAGI okuva edda nga bangi bagamanyi ng’eddagala era nga bageeyambisa okuvumula endwadde naddala ekifuba. Omuntu ekifuba bwe kyamukwatanga ng’akuba eggi, abasinga nga balinywa bbisi era mu nnaku ntono ng’ekifuba kiwona.

NewVision Reporter
@NewVision

AMAGI okuva edda nga bangi bagamanyi ng’eddagala era nga bageeyambisa okuvumula endwadde naddala ekifuba. Omuntu ekifuba bwe kyamukwatanga ng’akuba eggi, abasinga nga balinywa bbisi era mu nnaku ntono ng’ekifuba kiwona.
Kyokka okusinziira ku kunoonyereza okukoleddwa abakugu, amagi galimu ebiriisa bingi ddala eby’omugaso eri omubiri era nga bw’ogettanira n’ogalya buli lunaku, endwadde
nnyingi tezisobola kukulumba. Omukugu mu by’endiisa era omusomesa ku yunivasite e Kyambogo, Dr. Aziiza Nahalomoagamba nti, eggi lya mugaso eri
emibiri gya e okuva ku kisosonkole okutuuka ku njuba era tekuli kyetaaga kusuula. Annyonnyola:
1 EKISOSONKOLE : Ekisosonkole ky’eggi kirimu ekirungo kya ‘calcium’ ekigumya amagumba, era kino kya mugaso naddala eri abaana abato ate n’abo abakyali mu lubuto. Omukyala bw’afuna olubuto, mu bimu ku bitundu ebikula ku mwana mwe muli n’amagumba, ate nga galina okuba amagumu ekimala.
Ekirungo ekiri mu kisosonkole ky’amagi kya mugaso mu mbeera eno.
Mu ngeri y’emu, n’abantu abakulu gamba ng’abakadde, amagumba gaabwe oluusi gatandika okunafuwa n’okusebbuuka mpolampola, mu mbeera eno, ekisosonkole ky’amagi kisobola okuyambako  okugazzamu amaanyi.
Okusoomozebwa wekukyali mu ggwanga kwekuba nti, abasinga tukyasuula kisuule oba oli awo n’ebiriisa ebigumya amagumba tusuubidde kubiggya mu mmere ndala. Ng’oyagala okuganyulwa mu bisosonkole by’amagi bino, osobola okubisa n’ofunamu
ensaano n’ogimamirira ku mmere oba mu nva n’olya. Oba osobola okuteeka ku caayi ng’amajaani n’onywa nawo ofunamu.
2 EKYERU (amazzi g’eggi) : Eggi era liriko ekitundu ekyeru eky’amazzi agaseerera,ekibeera wakati w’ekisosonkole n’enjuba. Kino ky’ekisingamu
ekiriisa ekizimba omubiri. Kirina n’emigaso emirala okuli:
 Okukuuma amazzi mu mubiri : Ekitundu ekyeru era kirimu n’amazzi agawerako
era bw’okitunuulira olaba nga kinaanuuka olw’amazzi.
Kati bw’okirya omubiri gwo guba n’amazzi agamala era Morris Olegmung :
Abasawo b’ebyendiisa balina okwongera okusomesa abantu emigaso egiri mu magi naddala eri abakyala ab’embuto kubanga beetaaga nnyo ebiriisa.
Abantu kye bagamba Kezironi Mulindwa : Amagi gasaana ne gatandika
n’okuweebwa abaana ku masomero naddala aba Pulayimale kubanga oluusi balumbibwa endwadde gamba ng’ekifuba ate ng’amagi galimu ebiriisa ebibawonya.
Teopista Nabuuma: Ekisinga okusoomooza mu kufumba amagi kwe kumanya obudde obutuufu nti, gayidde. Oluusi oyinza okwagala liggye bulungi ate alirya n’atalifunamu
ng’ekiriisa kiweddemu. ebitundu by’omubiri ebigeetaaga ne bisobola okukola obulungi
emirimu gyabyo.
 Okuzimba obusimu bw’omubiri : Ekitundu ky’eggi ekyeru kiyambako okuzimba
obusimu bw’omubiri obuyamba mu kutambuza obubaka obw’enjawulo mu mubiri.
 Okuzimba obuto aali bw’omubiri : Era ekitundu ekyeru eky’eggi kirimu ebirungo  ebizimba obuto aali bw’omubiri obumanyiddwa mu kweyambisibwa nga bakebera endagabutonde z’abantu.
 Okuyambako mu kuzimba olukizi : Olukizi ky’ekimu ku bitundu by’omubiri eby’omugaso nga singa lubaako ekizibu oba okufuna obukosefu obw’amaanyi omuntu alemwa okutambula n’ebitundu by’omubiri ebimu okufuna obubaka ku kyetaagisa okukolebwa.
Ekitundu ky’eggi ekyeru kiyambako mu kuluzimba naddala ng’omwana akyali mu
lubuto n’atuuka okuzaalibwa nga mulamu bulungi.
3 ENJUBA : Kino ky’ekitundu ky’eggi ekisingamu ebiriisa era y’ensonga lwaki abantu
gye basinga okuteekako essira nga balya. Mu biriisa bino mwe muli; ebitangira endwadde, ebizimba omubiri, n’ebirala. Kino kitegeeza nti, bw’olya enjuba y’eggi, oba weetangidde endwadde nnyingi ekikuuma obulamu bwo obulungi.
ENFUMBA N’ENDYA Y’EGGI ENTUUFU
Dr. Nahalomo agamba nti:
 Bw’oba ofumba eggi, teririna kusukka ddakiika 10 nga litokota. Lifumbe wakati w’eddakiika nnya (4) ne 10 nga litandise okutokota.
 Bw’oba osazewo kulisiika, kozesa butto mutono ddala ate nga yandibadde wa butonde
gamba ng’ava mu ovakkedo oba mu binazi, ate tolikaza nnyo ng’olisiika.
 Omunnyo gusiikiremu, kyokka ery’empogola osobola okuliteekako omunnyo mutono
ddala newankubadde ng’omubisi si mulungi, ate nalyo lirimu omunnyo gwalyo ogulimala.
Abamu bagufumbira mu mazzi ge balifumbisa ne gutokoteramu. Omunnyo gw’onoolya nga mubisi oba gw’onooteeka ku ggi, sooka ogufumbeko.
 Si kituufu nti eggi limala ennaku musanvu mu mubiri, okufaananako ng’ebyokulya
ebirala, terisukka nnaku ssatu nga liri mu mubiri. Kino kitegeeza nti, kisaanidde n’olyayo eggi waakiri limu buli lunaku. Kyokka ggwe alinamu obulwadde naddala nga waliwo ebyokulya by’olina okwewala (alaje), yogera n’omusawo ku ndya y’amagi okwewala obuzibu obuyinza okukutuukako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});