Entegeka ya buluuda eyamba enkoko obutakoma
May 10, 2025
NGA tukyatunuulira okulunda enkoko mu ngeri ekuwa ssente mu mboozi zaffe ez’okulima n’okulunda nga bizinensi, leero tugenda okutunuulira ekkulizo oba buluuda.Ssaalongo Robert Sserwanga omukugu mu kulunda enkoko owa Agrarian Systems e Wakaliga era minisita wa Kabaka ow’emizannyo n’abavubuka annyonnyola nti ekifo kino kikulu nnyo kuba obulamu bw’enkoko enaakuwa ennyama oba amagi we butandikira.

NewVision Reporter
@NewVision
NGA tukyatunuulira okulunda enkoko mu ngeri ekuwa ssente mu mboozi zaffe ez’okulima n’okulunda nga bizinensi, leero tugenda okutunuulira ekkulizo oba buluuda.
Ssaalongo Robert Sserwanga omukugu mu kulunda enkoko owa Agrarian Systems e Wakaliga era minisita wa Kabaka ow’emizannyo n’abavubuka annyonnyola nti ekifo kino kikulu nnyo kuba obulamu bw’enkoko enaakuwa ennyama oba amagi we butandikira.
WALIWO ebintu eby’enjawulo by’olina okussaako essira ng’oteekateeka buluuda kuba ennaku ezisooka mu bulamu bw’enkoko nkulu. Wano amagumba we geetondera, obwerinde bw’omubiri n’ebirala ebigenda okuyamba enkoko okukola obulungi.
Osobola okuzimba ennyumba ey’enjawulo oba okusala akatundu ku nnyumba mw’ogenda okulundira osaleko ekitundu ky’ogenda okufuula buluuda era ng’ogenderera bino;
Obugazi bw’ekifo
Obukoko obuto 21 bwetaagaobugazi bwa mmita emu ku emu (1m x 1m). N0olwekyo genderera omuwendo gw’obukoko bw’oleeta okusinziira ku kifo ky’olina.Obugazi buno bumala enkoko z’ennyama okumala ennaku 10-14 ate ez’amagi ennaku 21. Oluvannyuma genda ng’ogaziya. Bw’okola ekifo kino nga kinene mu ntandikwa oba ofiirwa kuba olina okusaasaanya ekiwera okubugumya ekifo ekyo.
Ekitangaala
Ennyumba y’enkoko ento yeetaagamu ekitangaala nga kituuka bulungi ku ttaka nga ziraba bulungi ebiriirwamu n’ebinyweerwamu. Jjukira nti enkoko eno ggwe maama waayo awatali agenda kugiriisa.
Ebbugumu
Enkoko eno yeetaaga ebbugumu ery’ekigero ng’oyinza okukozesa ebintu eby’enjawulo okuli; ng’ebyuma ebisindika empewoebuguma, ssigiri, ensuwa oba ebikozesa gaasi. Ennyumba yeetaaga okubeeramu ebbugumu lya diguli 24 ku ttaka, obukuta okugenda okussibwa ekipapula nga bulimu ebbugumu lya diguli 30 ate empewo ngeri wakati wa diguli 34-36. Osobola okukozesa obupima ebbugumu okumanya ekituufu. Ebbugumu ogenda olikendeezaako nga wayise ennaku kuba nazo ziba zigenda zimanyiira obulamu obwebweru ate nga bwe zimera ebyoya. Waakiri buli luvannyuma lwa nnaku ssatu ng’okendeezaako diguli 2.
Bw’oba tolina kipima bbugumu liri mu buluuda osobola okulabira ku neeyisa y’obukoko okumanya nti ebbugumu limala, lingi nnyo oba ttono nnyo. Bweriba limala obukoko busaasaana ennyumba yonna. Ebbugumu bweriba lingi buddukira ku bisenge nga ate bweriba ettono bukung’aanira ku kivaako ebbugumu.
Ku Mmande tugenda kwongera okukunnyonnyola by’olina okussa mu kkulizo lyo okusobola okufuna enkoko ezigenda okukuwa ennyama n’okukubiikira amagi obulungi ofune ssente ezikweyagaza ng’omulunzi
No Comment